Bya Musasi Waffe
Kampala
Poliisi y’eggwanga etegeezezza nga bw’etandise omuyiggo gwa bamukwatammundu abakubye emmotoka ya Gen. Katumba Wamala amasasi ne batta muwala we ne ddereeva we enkya ya leero.
Ettemu lino lyabaddewo wakati w’essaawa 2:47 -8:58 ku makya ku luguudo Kisota – Kkulambiro mu Divizoni y’e Nakawa mu Kampala.
Kigambibwa nti Katumba Wamala abadde agenda kuziika Nnazaala we ng’ali wamu ne muwala we, Brenda Nantongo ow’emyaka 21.
Ddereeva w’emmotoka, Hassan Kayondo naye afiiriddewo ate ye omukuumi SGT. Khalid Koboyoit asimattuse nga talina kisago kyonna.
Amyuka Ssaabaduumizi wa Poliisi, Gen. Paul Lokech ategeezezza bannamawulire nti buno bwe butemu obw’ekika kino obubaddewo okuva mu mwaka gwa 2019 era nga bubadde butegeke.
“Abatemu ababadde batambulira ku pikipiki bamugoberedde okuva mu makaage e Bulabira -Najjeera okutuuka bwe batuuse mu kiromita nga 4 e Kisota-Kkulambiro. Abatemu babadde 4 era nnamba za Pikipiki babadde bazibisse era bwe batuuse wano kwe kutandika okukuba emmotoka ye amasasi agattiddewo Nantongo Brenda ne Haruna Kayondo.” Lokech bw’annyonnyodde.
Lokech agamba nti baayungudde dda abakugu mu kunoonyereza okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli era baatandise dda okukung’aanya obujulizi obuyinza okubayamba okukunula abatemu bano gye beekwese wabula ng’ekigendererwa kyabwe tekinnamanyika.
Ono akakasizza nti baakuzuula abatemu bano bavunaanibwe mu mateeka era n’alabula omuntu yenna ayagala okutabangula emirembe gya bannayuganda nti tebagenda kumuganya.
Poliisi etaddewo essimu nnamba 0714667787/ 0714667789 okuweereza obutambi obuyinza okulonkooma abatemu bano oba bategeeze poliisi ya Kira Road.
Mu ngeri yeemu, poliisi eriko obutambi bw’efulumizza ku batemu bano era n’esaba abayinza okumanya ebikwata ku bantu bano okubawa amawulire.