Minisita avunanyibwa ku by’enguudo n’entambula Gen Edward Katumba Wamala alabudde abantu bonna banaagezaako okujingirira sitiika z’emotoka ezaagabiddwa abantu n’ebitongole eby’enjawulo abakkiriziddwa okusigala nga bazikozesa.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni kuntandikwa ya ssabbiiti eno, yawera emmotoka zonna okutambula mu kaweefube w’okulwanyisa ensaasaana y’ekirwadde kya COVID-19.
Wamala yagambye nti sitiika zaabwe baazitaddemu ebintu ebikizibuwaza okuzijingirira.
“Oyo yenna gwetunaakwata ne sitiika enjigirire, emmotokaye tugenda kugiwamba ppaka ennaku pulezidenti zeyateekawo okulwanyisa COVID nga ziweddeyo ate oluvanyuma tubatwale mu kkooti,” Katumba bweyagambye.
Yagasseeko nti abo abaweereddwa sitiika tebakkirizibwa kufuluma bitundu bya Kampala n’emirirwano ng’oyo yenna ayagala okufuluma Kampala n’emirirwano, ateekeddwa okusaba olukusa okuva eri minisita avunanyizibwa ku by’entambula.
Uganda woosomera bino ng’erimu abalwadde ba COVID-19 44.