Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Gavumenti ya wakati yakukwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okutereeza n’okuddaabulula ebisigalira by’abazirwanako ebiri mu disitulikiti y’e Luwero mu Buleemezi.
Bino by’ebimu ku bituukiddwako mu nsisinkano ebadde wakati wa Baminista ba Buganda okuli ow’ettaka n’ebizimbe Owek. David Mpanga ne n’Obulambuzi, Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala abasisinkanye Minisita Omubeezi ow’Akanyigo k’e Luweero Hon. Alice Kaboyo okulaba Obwakabaka bwe buyinza okukwatagana ne gavumenti eyawakati mu kutuukiriza ekiruubirirwa ekyo.

Mu nsisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo, bano basoose kwevumba kafubo, olwo oluvannyuma ne boogerako eri Bannamawulire.
Minisita David Mpanga ategeezeza nti ensonga enkulu ey’okukiiko olwo kwe kulaba ng’ettaka okuli ebyasigalira by’abazirwanako ery’e Luweero nga lya Bwakabaka okuli embuga ez’enjawulo, butya bwe binaakuumibwa wakati mu nteekateeka Gavumenti gy’eriko ey’okuzuula ebisigalira by’abamu ku beenyigira mu lutalo lwa 1986.
Ategeezezza nti wadde Gavumenti ebadde yatandise dda ku nteekateeka eno nga n’wamu okuzimba kutandise, bakiriziganyiza nti bagenda kulambula ebifo bino, okusobola okumanya ebitundu n’ebipimo ebituufu omulimu kwe gunatambulira.
Oweek Mpanga alaze emigaso Obwakabaka gye bulaba mu enteekateeka eno, nti ng’oggyeko okuzuula ebyasigalira by’abazirwanako, wagenda kubaawo okuzza okujjukira abo abalwanirira eddembe lya Uganda era wateekebwewo n’ekijjukizo ekiraga olutalo olwali mu Buganda ne Uganda yonna nga Abaganda balwanirira ensi yabwe ekyavirako n’Obwakabaka okuddizibwawo wamu n’abantu abatamanyi waziikibwa bakitaabwe oba abenganda zaabwe nabo okubaako webanatwalanga ekiggya ky’abantu baabwe.
Minisita Mpanga ku ludda olw’ebyenfuna annyonnyodde nti singa ebijjukizo binazimbibwa, wajja kubaawo okuyingiza ensimbi okuyita mu balambuzi nga n’abo abaagala okumanya ku byafaayo by’entalo basasula ensimbi kiyambe okwongera ku byenfuna eri abantu abanaakoleranga obutereevu ku kijjukizo ekinaaba kizimbidwa.
Ye Minisita Omubeezi ow’akanyigo k’e Luwero Hon. Alice Kaboyo ategeezeza nti ensisinkano eno egendereddwamu okufuna ebiroowozo mu Gavumenti ya Kabaka okubako bye bakanyaako ebikwata ku bijjukizo ebikwata obutereevu ku Bwakabaka naddala ebyali mu lutaalo olwayindira mu bbendobendo ly’e Luweero mu Buleemezi.
Hon. Kaboyo era annyonnyodde nti waliwo abazirwanako abataasobola kumalako lutalo era n’ebisigalira byabwe tebyagibwayo mu nsiko ne basigala ku ttaka ly’Obwakabaka so nga waliwo obwetaavu bw’okulikoseza mu byenkulaakulana. Wano Minisitule weyasinzidde okwagala okuteekawo entegeragana ey’okukola enteekateeka zonna mu bulungamu.
Hon. Kaboyo era alaze obukulu bw’okukuŋanya ebyasigalira by’abazirwanako nti kigenda kuyambako mu by’ensoma eri abayizi ne bannabyafaayo okumanya n’okusiiga ekifaananyi ekirungi ku wa eggwanga gye livudde mu byafaayo.

Abamu ku beetabye mu nsisinkano eno kubaddeko abakungu okuva mu kitongole ki UNESCO, aba Buganda Land Board ne bakamiisona okuva mu minisitule ya kanyigo ke Luweero.