Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabawolereza wa gavumenti ya Uganda ajulidde ku nsala y’abalamuzi ba kkooti etaputa Ssemateeka gye baakoze Ssabbiiti ewedde ng’eraga nga kkooti y’amagye bw’etalina buyinza kuwozesa bantu baabulijjo.
Bino byabadde mu nsala y’omusango ogwawaabwa abadde omubaka wa Munisipaaali y’e Nakawa, Michael Kabaziguruka mu 2016 mwe yali awakanyiza okuwozesebwa mu kkooti eno.
Mu nsala yaabwe, abalamuzi basatu ku babiri bakkaanyizza nti kikyamu okuwozesa abantu baabulijjo mu kkooti y’amagye ate nga si bajaasi.
“Kkooti y’amagye si kitundu ku kitongole ekiramuzi. Bano bagwa butereevu mu ssiga erikulirwa Pulezidenti nga bwekirambikibwa mu kitundu nnamba 12 ekya Ssemateeka ekyogera ku by’okwerinda by’eggwanga n’ebitongole ebigwa mu ttuluba lino.” Omulamuzi Kakuru bwe yategeezezza Ssabbiiti ewedde.
Abalamuzi bano bagamba nti kkooti y’amagye terina buyinza kuwozesa bantu baabulijjo kuba kikontana n’ennyingo ya Ssemateeka eya 28.
Abo abayingira amagye beebo abalina okuvunaanibwa kkooti y’amagye ng’etteeka eribafuga erya UPDF Act bwe likirambika.
Wabula Ssaabawolereza wa gavumenti agamba nti agenda kujulira ku nsonga eno era agenda mu kkooti ensukkulumu, esobole okusazaamu ensala y’abalamuzi bano.
“Abeebitiibwa abalamuzi mu kkooti etaputa Ssemateeka baakoze ensobi okugamba nti abantu abatali bannamagye tebalina kuwozesebwa mu kkooti y’amagye mu tteeka lyonna eddala.” Ebbaluwa esaba okujulira eriko omukono gwa Martin Mwambutsya, omu ku bakungu mu woofiisi ya Ssaabawolereza bwe yasomye.
Okusinziira ku Ssaabawolereza, abalamuzi ba kkooti etaputa Ssemateeka baabadde bakyamu okugamba nti okusimba abantu ba bulijjo mu kkooti y’amagye kikontana n’ennyingo eya 28 mu Ssemateeka.
Ennyingo 28(1) eya Ssemateeka egamba nti mu kakasa eddembe ly’abantu abanaaba bakwatiddwa oba abalina emisango, omuntu ajjanga kuwozesebwa mu bwenkanya, mu bwangu era mu lujjudde mu kkooti eyeetengeredde oba akakiiko konna akanaateekebwawo mu mateeka.
“Abalamuzi ba kkooti etaputa Ssemateeka baasobezza okugamba nti kkooti y’amagye teyeetengeredde ng’ennyingo 28(1) eya Ssemateeka bw’egamba.” Ssaabawolereza bwe yagasseeko.