Bya Ssemakula John
Kampala
Abeng’anda z’abantu abawera 8 abaakwatibwa ab’ebyokwerinda ku by’okukola obulumbaganyi ku Gen. Katumba Wamala obwafiiramu muwala we ne ddereeva we, batutte gavumenti mu kkooti.
Kino kiddiridde ab’ebyokwerinda okuvaayo Ssabbiiti ewedde ne bategeeza nga bwe bakutte; Kamada Walusimbi aka Mudinka, Siriman Kisambira aka Mukwasi, Juma Saidi, Juma Sserwadda be Muhammad Kagugube aka Bafumoya ate abalala; Hussein Wahab Lubwama aka Master, Mustafa Kawawa Ramadan aka Amin ne battibwa nga bagezaako okudduka.
Bannamateeka b’abakwate bano ku Mmande baddukidde mu kkooti ne bagisaba ekiragiro kya habeas corpus ekiragira ab’ebyokwerinda okubaleeta mu kkooti si nsonga balamu oba bafu.
Abeng’anda bano nga bayita mu bannamateeka ba Wameli and Co. Advocates, baategeezezza kkooti nti abantu baabwe baakwatibwa ab’ebyokwerrinda okuva mu maka gaabwe ag’enjawulo e Kawanda, Maganjo, Muyenga ne Namuwongo mu Kampala ne Wakiso, naye n’okutuusa kati tebaleetebwanga mu kkooti ng’amateeka bwe galagira.
“Abasajja abaali mu ngoye ezaabulijjo ne z’amagye nga babagalidde emmundu baabakwata ne babatulugunya oluvannyuma ne babateeka mu mmotoka . Kati zisusse mu ssaawa 48 eziragirwa mu mateeka naye tebaleetebwanga mu kkooti.” Ekimu ku birayiro ekyakubiddwa Francis Nyakoojo bwe kisomye.
Abeng’anda bagamba nti okuggalira abantu baabwe essaawa ezisoba mu 48 mu bifo ebitamanyiddwa, kimenya mateeka kuba kiyingirira eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka.
“Nkakasa nti okukwata abantu baffe mu bukyamu kiyingirira eddembe lyabwe eribaweebwa Ssemateeka mu nnyingo ya 23 era bwetutyo ne tusalawo okusaba kkooti eyingire mu nsonga zaffe, basobole okufuna eddembe lyabwe.” ekirala ku birayiro bwe kisoma.
Ekiragiro bano kye basaba kigenda eri Ssaabawolereza wa gavumenti, Ssaabaduumizi wa poliisi, Aduumira Special Investigations Division, Kireka n’akulira ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence(CMI), okuleeta abantu baabwe mu kkooti.