• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Gabunga Asisinkanye ab’Essiga lya Mugula -Entebe: Alabudde Ababba Ebintu by’Ebika

Gambuuze by Gambuuze
February 16, 2026
in Amawulire
0 0
0
Gabunga Asisinkanye ab’Essiga lya Mugula -Entebe: Alabudde Ababba Ebintu by’Ebika
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssaava Kevins Kanyike

Kabowa – Kyaddondo

Omukulu w’Ekika kye Mmamba Namakaka, Omutaka Gabunga James Mubiru Zziikwa IV era Gabunga owa 38 atabukide abazzukulu abatunda ebintu by’ekika nti baagambye nti bagenda kukubwa mu mbuga z’amateeka zibalamule.

Bino abyogedde bw’abadde asisinkanye bazzukulu be ab’essiga lya Mugula Entebe nga bakulembeddwamu omukulu w’essiga lino Omutaka Lubuuzibwa John Mayombwe bano bakiise mu mbuga mu nkola y’Olutikkulo eyatandikibwawo nga buli ssiga likiika Embuga.

Munteekateeka ekika ky’Emmamba gye kyatandikawo ey’olutikkulo, abazzukulu mu kika kino bakiika mu mbuga y’omutaka Gabunga ne batwalyo ebirabo omuli ensimbi enkalu okuyambako mu ntambuza y’emirimu. Ku mulundi guno abazzukulu okuva musiga lya Mugula – Entebe nga bakulembeddwamu Omutaka Lubuuzibwa John Mayombwe be bakiise embuga ewa jjajjaabwe, era bano baleese ensimbi enkalu n’Ebintu ebyenjawulo.

Omutaka Gabunga yebazizza abazzukulu abeetabye mu lutikkulo luno, era olw’okwewaayo ne bavujjirira emirimu gy’ekika, n’abazadde abakubirizza okusomesa abaana n’okubateekateeka nga balimu obuntubulamu. Gabunga asanyukidde nnyo bazzukulu be bafubye okuweerera abaana, agambye nti omuzadde yenna afaayo n’asomesa omwana aba amutemedde omusingi omulungi mu bulamu.

Katikkiro w’Ekika ky’Emmamba Kyobe Gerald Kaberenge agamba nti ekika nga kinaakulakulaana abazzukulu balina okwetaba mu mirimu gy’ekika n’Okugivujjirira, era yebazizza abazira Mmamba olw’okujjumbira enteekateeka y’Olutikkulo.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro w’Ekika ky’Emmamba munnamateeka Denis Bugaya agamba Buganda eyimiriddewo ku bika, era wano w’asabidde abazzukulu okweyunira emirimu gy’Ebika ng’akiggumiza nti Ebika bwe binywera ne Buganda eyongera okuggumira.

Omutaka Lubuuzibwa John Mayombwe ow’essiga lya Mugula – Entebe bw’abadde ayogerako eri abazzukulu abakubirizza okubeera obumu ekika kigende mu maaso ne Buganda eyongere okutinta.

Ku lw’Abamasiga mu kika kye mmamba, Omukulu w’essiga lya Wampona Nsubuga David asabye bazzukulu ba mugula okussa ennyo omulaka ku bulimi nga basoosowoza emmwanyi, n’ebirime ebirala olwo lwe bajja okwongera ku mnyingiza mu ssiga ssaako okuddukanya emirimu gy’Ekika.

Ssaalongo Mubiru David kulw’Abemituba egyetuukira obutereevu ku kasolya awanjagidde bazzukulu ba Gabunga okwettanira enkola ey’obwegaasi kyongere okubatuusa ku nkulakulana n’okugoba obwavu nga bakwatidde wamu.

Omutaka Ssemanobe owa 26 Kizito Paul akuutidde bazzukulu banne okunyweza ennono nga batandikira ku baana baabwe.

Katikkiro owe’ssiga lya Mugula – Entebbe, Nsubuga KK Lubereto alabudde bazzukulu ba Mugula ku bafere abazimba amasabo nga berimbika mu Entebbe za mugula Ono abagamba nti abantu nga abo bagala okutatana essiga lya mugula.

Ate ye Byekwaso Edward Nsubuga akubirizza abavubuka okwagala nnyo ebika byabwe nga benyigira mu mirimu egitwala ebika mu maaso n’okubikulakulanya.

Omukolo guno gwetabiddwako abaamasiga, abeemituba bannaddiini, ssaako bazzukulu ba Omutaka Ggabunga ku mitendera egy’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.