• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Federo tetegeeza byabufuzi byokka – Katikkiro Kaawaase

Gambuuze by Gambuuze
August 18, 2020
in Amawulire
0 0
0
Federo tetegeeza byabufuzi byokka –  Katikkiro Kaawaase
0
SHARES
25
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Oweek. Kaawaase ne boodi ya Emmwaanyi Terimba eyatongozeddwa

Bya Gerald Mulindwa

Bulange – Mmengo

Omumyuka Asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, ategeezezza nti  abantu abamu balowooza nti mukusaba Federo Buganda eyagala bukulembeze n’obufuzi ekintu ekitali kituufu.

“Mu Federo twagala okukola ebintu ebinayganyula omuntu wa bulijjo ate nga ffe tubirondoola kubanga tuli kumpi nnyo n’omuntu wa bulijjo,” Oweek. Kaawaase bweyanyonyodde.

Bino Oweek. Kaawaase yabyogeredde ku Bulange e Mmengo ku mukolo gw’okutongoza boodi ya ‘Emmwaanyi Terimba ku Lwokubiri lwa wiiki eno.

Kaawaase yasabye ebitundu eby’enjawulo birekebwe okukola ku nsonga zaabyo era nakakasa nga Buganda bwetajja kugenda ku ntikko okujjako nga etambulidde wamu n’abantu baayo nga ekyusa eby’enfuna byabwe n’okubaggya mu bwavu.

Oweek. Kaawaase ne Ssentebe wa boodi Dan Damulira

Mukwogera kwe, Minisita w’ettaka, obulimi n’obutondebwensi Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, yakigumizza nga bwebalina eddimu okulaba nga basitula eby’enfuna by’abantu  nga bayita mukulima emmwaanyi era nga y’ensonga lwaki abakugu baleeteddwa.

Ate ye Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Owek Hajji Amis Kakomo, yategeezezza nga Ssaabasajja Kabaka  bwayagala abantu be okudda ku mirimu ginnansangwa nga muno mwemuli n’okulima emmwaanyi.

“Obuganda buyiriddwamu endokwa z’emmwaanyi obukadde 10 nga zibaliriddwamu obuwumbi 4 n’ekitundu, abantu ba Buganda basomeseddwa okulima emmwanyi okuva ku kuziteeka mu kinnya okutuuka lwezigenda ku katale,”  Minisita Kakomo bweyagasseeko.

Kakomo yalaze nga ebitundu ebirima emmwaanyi mu Buganda bwebyeyongedde nga kino kyonna kivudde ku kaweefube wa Mmwanyi Terimba.

Ono yanyonyodde nga Buganda bweyawandiisa kkampuni egula emmwaanyi okusobola okutaasa abalimi ku kubabadondola wamu n’okulaba nga eyambako okusitula omutindo gwazo

Abakugu abalondeddwa okutuula ku boodi eno kuliko; Mw. Dan Damulira nga ye Ssentebe, Dr. Ssebaggala Godfrey Lusiba  mumyuka wa ssentebe, ate nga ku bammemba ye;  Muky. Remmie Kisakye, Muky. Harriet Nsubuga Mpanga, Mw. Fred Luzinda Mukasa ne Mw. Isaac Ssambwa Kakyama.

Ssentebe wa boodi  eno Dan Damulira, yeebazizza olwa Beene okumuwa obukulu buno era neyeyama ku lwa banne okutuukirizza obuvunanyizibwa buno kubanga okuva edda mu Buganda nga emmwanyi yeesomesa abaana.

Damulira yanyonyodde nga Buganda bweri ekimu ku bitundu ebisinga okuvaamu emmwanyi mu ggwanga era nasuubizza  omulimu guno okugutambuliza ku bwenkanya n’okulaba nga abalimi bafuna ekisaanidde.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.