• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

FDC eyagala wabeewo okunnoonyereza ku bantu abattibwa e Karamoja

Gambuuze by Gambuuze
April 4, 2022
in Amawulire
0 0
0
FDC eyagala wabeewo okunnoonyereza ku bantu abattibwa e Karamoja
0
SHARES
41
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Najjanankumbi – Kyaddondo

Pulezidenti w’ekibiina ki Forum for Democratic Change(FDC), Patrick Oboi Amuriat asabye gavumenti ennoonyereze ku bigambibwa nti abamu ku b’ebyokwerinda beekobana n’ababbi b’ente mukitundu kye Karamoja nebakola obulumbaganyi obufiiriddemu abantu abawera.

Amuriat ategeezezza bannamawulire ku kitebe kye kibiina e Najjanankumbi nti bafunye amawulire nti  eky’okubba ente mukitundu kye Karamoja bakifudde mulimu era n’ab’ebyokwerinda bakyenyigiddemu.

“ Abamu ku bajaasi ba UPDF benyigiddemu . Twagala baveeyo mu lwattu boogere ekituufu ekigenda mu maaso e Karamoja era lwaki obubbi buno bweyongera buli lukya. Twagala wabeewo okunnoonyereza ku bantu abattiddwa ab’ebyokwerinda mu kitundu kino,” Amuriat bw’agambye.

Oboi ayagala abo abasangibwa ng’omusango gubasinga basimbibwe mu mbuga z’ amateeka bavunaanibwe  wasobole okubaawo obwenkanya.

Okusinziira ku b’ebyokwerinda bakutte abantu abawera 1,626  era ku bano 291 bamaze dda okusimbibwa mu mbuga z’amateeka.

“Tunyolwa olw’ebifaananyi ebyabagambibwa okubeera ababbi b’ente ebisaasaanyizibwa oluvannyuma lwa Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba okulangirira nga bwagenda okulumba ababbi b’ente bano. Amawulire getufuna galaga nti waliwo obulamu bw’abantu abatalina musango obugendeddemu,” Amuriat bw’agasseeko.

Oboi agamba nti obubbi bw’ente buno busaasaanidde n’ebintu ebirala ebiriraanye Karamoja okuli Kapelebyong, Katakawi, Kumi, Bukedea, Abim ne Agogo era eno waliwo abantu abaluguzeemu obulamu kumpi buli lunaku.

Ono annyonnyodde nti gavumenti esaanye efube okulaba ng’ente ezinunulibwa ziddizibwa bannyinizo abatuufu era gavumenti ebeeko engeri gyeyamba abantu abakoseddwa n’okwononebwa ebyabwe.

Amuriat ayagala amawanga ageegattira mu EAC ne IGAD gabeeko kyegakola okutangira eby’okulwanyisa naddala emmundu okuyingira e karamoja okuva e South Sudan, Uganda, Kenya ne Ethiopia.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist