Kampala
Musaayimuto era eyeesimbyewo ku bwapulezidenti, John Katumba, ali mu kattu oluvannyuma lw’okukitegeera ng’abamu ku bantu abali ku ttiimu emunoonyeza obululu, bwe baakwatiddwa ab’ebyokwerinda ku misango gy’obutemu.
Katumba ow’emyaka 24 akawungeezi k’eggulo yalabiddwako ng’atabaala poliisi z’omu Kampala okuli eya Kira Road ne Mawanda Road ng’anoonya ababiri ku bantu be abalina okumunoonyeza akalulu. Ku poliisi ya Mawanda Road yatuuseewo ku ssaawa 12 n’ekitundu ng’akuumibwa butiribiri abakuumi abaamuweereddwa akakiiko k’ebyokulonda.
Obukuumi Katumba bwe yatuukiddemu bwasombye abantu nga baagala okwerabira ku Katumba asinga obuto mu lwokaano. Katumba yasabiddwa omuvubuka oluvannyuma eyategeerekese nti ye Marvin, obutagezaako kwogera na bannamawulire kuba ekiseera kya bannamawulire kyabadde tekinnatuuka.
Ono yannyonnyodde nga bwe bagenda okutuuza olukung’aana lw’abannamawulire ku nsonga eno era n’alagira abakuumi ba Katumba okuziyiza munnamawulire waffe okugenda ku kawunta ya poliisi Katumba gy’abadde ali mu kwogerezeganya n’abapoliisi,wabula eno talina kye yafunyeeyo.
“Abantu be babiri baakwatiddwa ku misango gw’obutemu. Mpulira nti omu ku bo muganda we oba wa luganda,” Omupoliisi ku Mawanda Road bwe yagambye.
Ono agasseeko nti Katumba agezaako kubafunira kakalu ka poliisi naye tasobodde kuyambibwa, omu ku bano ali wano ku Mawanda Road ate omulala akuumibwa ku Kira Road era n’agaana okwogera ebisingawo ku nsonga eno.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire, yategeezezza omukutu gwa URN nti yabadde tamanyi ku nsonga eno n’asuubizza okubategeeza ng’alina ky’azudde.
URN