Bya Ssemakula John
Kampala
Eyali Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Stanely Ntagali, awummuziddwa ku bigambibwa nti yaganza omukazi omufumbo.
Okusinziira ku mukutu gwa Uganda Radio Network, kino kyalangiriddwa Ssaabalabirizi Kaziimba Mugalu mu bbaluwa eyafulumye nga January 13, 2021.
Ebbaluwa eno erumiriza nti Ntagali aliko muka omusajja gw’abadde yaganza era nga’ensonga eno ne Ntagali akkiriza nti aliko ky’agimanyiko.
“Obwenzi musango munene ku ddaala lyonna. Eyali Ssaabalabirizi Ntagali yalidde mu mukyala we, obufumbo bwe ne Yesu Kristo olukwe ne bannayuganda ababadde bamutunuulira ng’ekyokulabirako.” Ebbaluwa eri abeepisikoopi bwe yagambye.
Kaziimba yagasseeko nti Ekkanisa ya Uganda erina abagoberezi abawera obukadde 13 era nga bano bonna bakemeddwa era ne bonoona naye nga Bbayibuli bw’egamba mu kitabo kya Abaroma 2:23, ekkanisa erina okuteeka abakulembeze baayo ku nninga baleme kuva ku mulamwa.
Ono yannyonnyodde nti yamaze dda okutegeeza Ntagali ku nsonga eno era nga yayimiriziddwa okukola obuweereza bw’ekkanisa ku mutendera gwonna wadde okugaba amasakaremento oba okukiikirira ekkanisa.
Kaziimba yasabye abakkiriza okusigala nga basabira abafumbo ku njuyi zombi basobole okwenenya era basonyiwagane.
“Kano akadde si kakuzunza lugambo. Kadde ka kwetonda, kadde ka kusaba era n’okwekubamu ttooci era twenenye era akadde ak’okutereeza obufumbo bwaffe mu maaso ga Katonda,” Kaziimba bwe yagasseeko.
Kaziimba agamba nti Ekkanisa tegenda kuttira muntu yenna ku liiso era nga baakunyweza ekirabo ky’obufumbo era nga bakkiriza nti obufumbo bwa kitiibwa era nga bulina kubaawo wakati w’omwami omu n’omukazi omu.
“Tewali muntu ali waggulu w’amateeka ga Katonda. Tuyita abo bonna abamenye etteeka lino, mugende mu maaso ga Katonda mwenenye era musabe ekisonyiwo eri abo be musobezza.” Kaziimba bwe yagambye.
Kinajjukirwa nti Ntagali, 65, ye Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda ey’omunaana era nga yawaayo yafeesi eri Stephen Kaziimba Mugalu nga 01/ 03/2020 oluvannyuma lw’okutuuka ku myaka egiwummula.