• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi asabye aliyirirwe obukadde 500

Gambuuze by Gambuuze
October 29, 2020
in Amawulire
0 0
0
Eyakubwa akakebe ka ttiyaggaasi asabye aliyirirwe obukadde 500
0
SHARES
16
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Kampala

Omukazi eyalabikira mu katambi ku mutimbagano ng’akakebe ka ttiyaggaasi kamukubye ne kamusesembula omukono, awandiikidde Ssaabadduumizi wa poliisi, Martin Okoth Ochola, ng’ayagala aliyirirwe obukadde obuwera 500 olw’obuvune bwe yafuna.

Agnes Nakavuma, omutuuze w’e Kirombe Nsambya ategeezezza nti yali ku makubo ge ng’agenda mu katale okusuubula ebibala by’atunda, omu ku bapoliisi abaali bagumbulula abawagizi b’omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana ng’ava okwewandiisa n’amukasukira akakebe ka ttiyaggaasi.

Ono ng’ayita mu bannamateeka be aba Nalukoola, Kakeeto Advocates agambye nti yafuna obuvune obwamaanyi ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku lubuto. Nakavuma annyonnyodde nti yaddusiba mu ddwaliro e Nsambya gy’akyali n’okutuusa olwaleero.

Kati bannamateeka be nga bakulembeddwamu Nalukoola Luyimbaazi bagamba nti omuntu waabwe alongooseddwa emirundi egiwera ate era ng’akyaddamu okulongoosebwa.

“Embeera eno yakosa nnyo omuntu waabwe era ng’abapoliisi abalagira amateeka okukuuma Bannayuganda n’ebintu byabwe ate be baamuteekako ebisago. Kyokka tewali mupoliisi yenna yali alinnye mu ddwaliro okulaba embeera ono gy’alimu,” Ekiwandiiko kya Nalukoola bwe kisomye.

Ono agasseeko nti ekiwandiiko kino kigendereddwamu okutegeeza  Ssaabaduumizi mu butongole nti basajja be baateeka obuvune ku buntu waabwe naye ne watabaawo kikolebwa ku mujjanjaba wadde okumuliyirira.

Bannamateeka baagala ono aliyirirwe obukadde 500 era n’obukadde 10 eza bannamateeka era nga zino zonna zirina okusasulwa mu bbanga lya nnaku 14 era nga singa bigaana baakukuba Ssaabaduumizi wa poliisi mu kkooti.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano ategeezezza nti ensonga eno bagimanyi naye olw’okuba bannamateeka be baawandiikidde Ssaabaduumizi wa poliisi, mu nkola egobererwa balina okukwatagana ne bannamateeka bapoliisi basobole okumuwabula.

Kinajjukirwa nti, Nakavuma we yafunira obuvume, akakiiko k’ebyokulonda kali kaakamala okulabula abeesimbyewo ku bubaka bwa palamenti okutayisa bivvulu nga bava okwewandiisa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist