Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi y’eggwanga ng’eri wamu n’amagye bafulumizza enteekateeka z’okuziika abadde omumyuka wa Ssaabaduumizi wa poliisi, Maj. Gen Paul Lokech eyafudde ku lunaku Lwomukaaga oluvannyuma lw’akatole k’omusaayi okwekwata ne kamugenda mu mawuggwe.
Enteekateeka eno efulumiziddwa omwogezi wa poliisi y’eggwanga, Afande Fred Enanga mu lukung’aana lwa bannamawulire e Nagguru mu Kampala ku Ssande n’akakasa nti buli kimu kigenda kukolwako poliisi awamu n’amagye.
Okusinziira ku nteekateeka zino, ku Lwokusatu nga 25, omulambo gw’omugenzi gugenda kutwalibwa mu maka ge e Kitikifumba mu Divizoni ye Kira, basobole okugusabira awamu n’abantu okumulabako.
Enkeera nga 26, Omulambo gugenda kufulumizibwa Kampala, gutwalibwe mu maka g’omugenzi mu disitulikiti y’e Pader gye gugenda okumala ekiro kiramba abaayo basobole okumukungubagira.
Olwo ku Lwokutaano nga 27, Maj Gen. Paul Lokech aziikibwe ku biggya bya bajjajjaabe.
Afande Enanga asabye abakungubazi abagenda okwetaba mu nteekateeka eno okufuba okukwata ebiragiro ebitangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona, kiyambeko obutatabangula mbeera.
Ono annyonnyodde nti poliisi n’amagye baamaze dda okuyungula basajja baabwe okulaba nga bakwasisa ebiragiro wamu n’okulaba nti omuwendo gw’abakungubazi tegubeera mungi nnyo e Pader.
“Tukyagenda mu maaso n’okukungubagira obulamu bw’abadde amyuka Ssaabaduumizi wa poliisi era twagala okwebaza abakungubazi ab’enjawulo wamu n’abantu ssekinnoomu abatuwadde obubaka obutusaasira n’okutugumya.” Enanga bwe yeebazizza.
Obubaka obwenjawulo buvudde mu biti ebyenjawulo omuli; bannabyabufuzi, bannaddiini wamu n’amawanga ag’omuliraano okuli South Sudan ne Somalia omugenzi gye yali era gye yakolera ennyo okulaba ng’ebitundu bino bibeeramu emirembe.