• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Enteekateeka z’Okujaguza Amatikkira ag’e 32 zanjuddwa

Gambuuze by Gambuuze
July 8, 2025
in Amawulire
0 0
0
Enteekateeka z’Okujaguza Amatikkira ag’e 32 zanjuddwa
0
SHARES
202
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Abantu ba Kabaka mu ggombolola z’e Kyaddondo, Kooki ne Buddu bakiise Embuga n’oluwalo olusobye mu bukadde 60.

Ku lwa Katikkiro, Minisita Israel Kazibwe Kitooke era Omumyuka Ssentebe w’enteekateeka z’okujaguza amatikkira ga Kabaka ag’emyaka 32, ayanjulidde abakiise Embuga ebitegekeddwa mu kujjukira bwe giweze emyaka 32 nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe.

Owek. Isreal Kazibwe Kitooke ategeezeza nti emikolo emitongole egyakakasidwa kuliko; ebyoto by’abavubuka mu buli ssaza nga ekyoto ekikulu kya kubeera mu Kyaddondo, waliwo ensiisira z’ebyobulamu, ensiisira z’ebyamateeka, okussa enkizo ku muzannyo gwa ‘Golf’ nga guzanyibwa mu bisaawe ebyenjawulo, okugulawo ekizimbe kya CBS PEWOSA e Buddu, okusaba mu masinzizo ag’enjawulo n’emikolo emikulu ku muzikiti e Kibuli era nayo wajja kubaayo okusaba kw’okwebaza Katonda olw’ekkula lino. Akuutidde abantu okwetaba mu nteekateeka zonna.

“Obumu bwe butufudde abamaanyi era bwe butufudde ab’ettendo, oluusi abamu bwe batulaba benyamira naye ffe nga Abaganda tusigadde tuli bumu” Minisita Kazibwe bw’ayogedde ng’akubirizza Obuganda okwongera okubeera obumu.

Minisita Kazibwe taleseeyo kukoona ku kirime kya mmwanyi, eky’ekyewanisiza abalimi emitima olw’ebbeeyo eyongera okukka, abagumizza nti ebbeeyi okugwa kiyinza okuba kiva ku bantu abangi kati abafulumya ekirime kino naddala nga n’Ensi ya Brazil eyafuna okusoomoozebwa gye buvuddeko kati yakomyewo ku katale, abasabye bbo bongere kufulumya mmwanyi ya mutindo, abantu bagiyaayanire, akatale kajja kuddamu okusituka.

Minisita Israel Kazibwe Kitooke ng’akwasa certificate eri abamu kw’abo abakiise Embuga

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki alaze obwetaavu bwa buli muntu okusitukiramu okuwagira emirimu gya Ssaabasajja naddala okuyita mu nteekateeka ya Luwalo Lwaffe olwo Buganda eyongere okudda ku ntikko.

Omubaka omukyala owa Wakiso Betty Ethel Naluyima yebazizza Obwakabaka olw’amaanyi agateereddwa mu kulambika enkuza ennungi mu baana okuyita mu bibiina ebitali bimu nga Nkobazambogo, Akeezimbira n’ebirala.

Eggombolola okubadde Mut.VI mukulu wa kibuga, Musaale Busukuma, Ssaabaddu Lwamaggwa ne Mut. XIII Kisekka ge galeese obukadde obusobye mu Nkaaga (60,950,930) kwossa n’amasomero okuli Mackay College Nateete, Aunt Claire Kindergarten, Rock of Joy Primary school, New Kabaale Busega, London High School namala mangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.