Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’Obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka, Owek. Prof Twaha Kigongo Kaawaase, asabye Bannayuganda okujjumbira okugaba omusaayi kubanga ensonga eno tesosola mu bantu.
Okusaba kuno, Owek. Kaawaase akukoze leero ku Lwakuna mu Bulange e Mmengo bwabadde yeetabye mukugaba omusaayi.
“Ensonga gye tuliko olwaleero ey’okukung’aanya omusaayi nayo tesosola era bwe bakuteekamu empiso, omusaayi ffenna ogutuvaamu mumyufu, k’obeera Muzungu, Mucholi oba kabira ki.” Owek. Kaawaase bw’annyonyodde.
Abawadde eky’okulabirako ky’ebizibu ebiruma abantu ba Kabaka ebitataliza ggwanga, ddiini ne langi nga biriko gwe bigenda okulumba.
Owek. Kaawaase agambye nti abakugu bakola kimu kya kusengeka musaayi okusinziira ku ‘Group’ mwe guva naye tegumanyi nsalosalo era n’asaba abantu okukwatagana bataase obulamu awatali kufa ku langi.
Asabye bannabyabufuzi abali mu kusaba obululu babakunge bagabe omusaayi kiyambe okutaasa abagwetaaga mu kaseera kano ng’eggwanga likyali mu mbeera ya Corona.
Minisita Kaawaase akubirizza abantu okugaba omusaayi kubanga kibayamba okuguzza obuggya omusaayi gwabwe emibiri gyabwe negyongera okweyagala.
Kaawaase asiimye Nnamuswa olw’okutandika ekitongole kino ekiyamba okulabirira n’okujjanjaba abantu ba Ssaabasajja mu bitundu eby’enjawulo.
Enteekateeka eno ekyagenda mu maaso ku Bulange ng’ewagiddwa aba Uganda Blood Bank, Uganda Red Cross, Mengo Hospital, ne Kabaka Foundation.