• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo ez’Obwakabaka 2025: CBS ewangudde engule

Gambuuze by Gambuuze
December 19, 2025
in Amawulire
0 0
0
Ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo ez’Obwakabaka 2025: CBS ewangudde engule
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Maria Gorreth Namisagga

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda mu nkola yaabwo eya buli mwaka mu kuggalawo, butegeka omukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo nga ku mulundi guno enteekateeka zikulembeddwamu Ekelezia Katolika, ate nga Buganda Royal Institute y’akulembeddemu ebitongole by’Obwakabaka mu kutegeka omwaka guno.

Kwaaya (4) okuva mu Ekelezia Katolika ze zeetabye mu nnyimba z’amazaalibwa ez’omwaka guno, nga kw’otadde ne kwaaya y’abaweereza b’Obwakabaka eyawamu, bano bakoolobye ennyimba ezisuusuuta omutonzi mu maloboozi agawooma okukamala.

Ssaabasajja Kabaka y’Asiimye n’aweereza omugenyi omukulu ku mukolo guno nga ye Mulangira Herbert Kateregga, awerekeddwako Omuzaana Solome Mirembe n’Omulangira Felix Muteesa. Omulangira Kateregga y’akulembeddemu akatuuso k’okusala kkeeci, wamu n’okukoleeza omuti gwa ssekukkulu ng’akabonero ak’okuggalawo emirimu mu Bwakabaka era ak’okwagaliza abaweereza b’Obwakabaka Amazaalibwa ga Kristo ag’essanyu n’omwaka omuggya ogw’emirembe.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere, mu kubuulira kwe yabuulidde, yebazizza Katikkiro ne Gavumenti ya Kabaka yonna olw’okufaayo ennyo ku kifaananyi ky’Obwakabaka mu ngeri ey’esiimisa mu Ggwanga n’Ensi yonna.

Kyokka Ssaabasumba tabadde na bigambo biwoomu ku bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu ebigenda mu maaso mu ggwanga, avumiridde ebikolwa eby’okubba obululu ebyeyolekera mu kulonda n’asaba akakiiko k’ebyokulonda ku mulundi guno okutegeka akalulu ak’amazima n’obwenkanya, ono asabye n’abakuumaddembe okukomya okukuba abantu emiggo wadde omukka ogubalagala.

Ssaabasumba asabidde Eggwanga lyonna emirembe mu kiseera ky’akalulu wamu n’eggandaalo lya Ssekukkulu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, asinzidde wano okweyanza Ssaabasajja Kabaka olw’okuwa abantu be emirimu ng’ayita mu kutandikawo ebitongole ebitonzeewo emirimu, era wano alangiridde nti emirimu gy’Obwakabaka giggaddewo mu butongole okutuuka nga 5 Gatonnya 2026.

Kamalabyonna atenderezza emirimu l ejikoleddwa mu Bwakabaka Omwaka guno, mu byenjigiriza, ebyobulamu, ebyemizannyo, okusisinkana abantu ba Ssaabasajja , okukolagana ne bannamukago, n’ebirala.

“Emirimu mingi egikoleddwa mu Bwakabaka ne mu bitongole mu; byobulamu, ebyenjigiriza, Obuwangwa bwaffe, okulwanyisa obwavu, okutambula n’abavubuka, okulwanirira ekifaananyi ky’Obwakabaka, ebyemizannyo n’ebirala, naye omulimu ogusinze gyonna mu 2025 kwe kumaliriza Amasiro g’e Kasubi nga bwe nnalangiridde nga 12 December, nneebaza abantu be tukoze nabo omulimu ogwo, ne betukoze nabo emirimu giri emirala gyonna” Katikkiro Mayiga.

Owek. Mayiga ayanjudde ebitongole nga bwe bikoze mu ntambuza y’emirimu era nga ekitongole ky’Obwakabaka ekisinze mu 2025 ono ye leediyo CBS, era bano baweereddwa engabo ne sseddume w’ente, nga n’ebitongole ebiddiridde biweereddwa embuzi nga ku bino kuliko BBS Terefayina n’ebirala. Waddewo n’okusiima abakozi abakize ku bannaabwe mu buweereza omwaka guno, era bonna baweereddwa amayinja agabasiima.

Ekitongole ekya Lubiri High School ettabi ery’e Mengo kye kirangiriddwa okutegeka omukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Kristo omwaka ogujja.

Omukolo guno gwetabiddwaako Abalangira n’Abambejja ab’enjawulo, Abataka Abakulu b’Obusolya, Kabineeti ya Kabaka, Abaami b’Amasaza Bassenkulu b’ebitongole, Bannaddiini, abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka byonna n’Abagenyi abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.