Bya Miiro Shafik
Namirembe – Kyaddondo
Obwakabaka busabye buli akwatibwako ku nkuza y’abaana akole ekisaanidde okulaba nti enneeyisa y’abaana naddala abavubuka erongooka.
Okusaba kuno kukoleddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde yetabye mu kusaba n’okulayiza President wa Mother’s Union mu bulabirizi bw’e Namirembe.

Nnaalongo Bingi Roseline Kawiso ye Pulezidenti w’ekitongole ky’abakyala abafumbo mu bulabirizi bw’e Namirembe eyalondeddwa okudda mu kifo nate era ono akubye ebirayiro ne banne bwe balondeddwa ku lukiiko lw’ekitongole kino. Omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja y’akulembeddemu okusaba n’okulayiza bano.
“Amaka y’ekkanisa, amaka bwe gaba tegateredde bulungi nga temuli Maama akubirizza abaana okusaba oba abakulemberamu mu mirimu gy’ekkanisa olwo ekkanisa ey’enkya tebaawo” Owek. Waggwa.
Owek. Nsibirwa agamba nti mu maka, ekkanisa mw’etandikira era amaka bwe gatebenkera obulungi n’ekkanisa etereerera, era amaka bwegatabaamu nteekateeka esaanidde buli mutendera gw’obukulembeze gumenyeka. Annyonyodde nti ne Buganda amaka oba enju gwe mutendera ogusookerwako okudda, kale nga bwe gafa ne Buganda tebaawo.
Owek. Nsibirwa wano w’asabidde obukulembeze ne ba mmemba ba Mother’s Union okusitukiramu mu kunyweza amaka, ategeezezza nti waliwo okusiiwuka empisa mu bavubuka ensangi zino, ky’atadde ku ngeri gye bakuzibwamu mu maka. Ategeezezza nti engeri yokka ey’okukyusa okusiiwuka kw’empisa mu bavubuka buli muntu kusitukiramu.
Owek. Nsibirwa yebazizza aba Mother’s Union olw’obunyiikivu mu buweereza, mu kukola emirimu gy’Ekkanisa. Bwatyo n’ayozaayoza abakulembeze obuggya n’abaagaliza obuweereza obulungi.
Omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja asinzidde wano n’ategeeza nti ekisanja kino kiyitibwa akuna muchezo lwa nsonga nti naye kye kimalako ekiseera kye ng’omulabirizi, bw’atyo n’ategeeza nti buli ekigenda okukolebwa kirina kubeera Kya mutindo, n’ebyo ebitakoleddwa mu kisanja ekiwedde olw’obumululu obubaddewo ku luno buveewo abantu bafunye obuweereza obusaanidde.

Banja ayozaayozezza abakulembeze abaggya n’abakuutira okutuukiriza obuvunanyizibwa obubasuubirwamu eri be bakulembera wamu n’ekkanisa, bakole emirimu egiweesa Katonda ekitiibwa era babeere ekyokulabirako ekisooka okuviira ddala ewaka okutuuka gye baweerereza. Abakubirizza okujjukiranga bulijjo nti Katonda y’aba obukulembeze n’abakuutira okuweereza obulungi abantu baleme kubeevuma mu mbeera yonna. Agamba nti bwe banaakola ebya Katonda, naye ajja kukola ebyabwe.
Banja yebazizza olukiiko olwakulembeddemu okulondesa ng’agamba nti yasanyuddwa nnyo okuwulira nti buli kimu kyatambudde bulungi awatali kusikangana, buli kimu ne kiggwa mu mazima na bwenkanya. Ono asabye abakulembeze ba Mother’s Union batambulire mu mbeera eno eraga omutindo oguggyayo ekitiibwa ky’ekitongole n’ekkanisa.
Nnaalongo Bingi Roseline Kawiso ku lwa banne aweze nti bagenda kukola emirimu mu ngeri eweesa ekkanisa ekitiibwa n’okusitula abakyala bonna wewaawo nga basoosowaza obufumbo. Ono ategeezezza nti bamalirivu okukola obuvunanyizibwa bwonna obubasuubirwamu.
Omukulo guno gwetabiddwako Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Kaliisoliiso wa Gavumenti eyawummula Beti Kamya, Bannaddiini n’Abakulisataayo ab’enjawulo naddala abakyala.










