Bya Maria Gorreth Namisagga
Kiboga – Ssingo
Abalimi e Kiboga amatooke kati bagasibako bukutiya okugataasa okuliibwa enkima.
Abatuuze ku kyalo Ttemanakali mu tawuni kanso y’e Bukomero mu disitilukiti y’e Kiboga, ensuku zaabwe zibasuza ku tebuukye olw’enkima ezaazinda ekitundu kyabwe nga zirya buli kiramu.
Enkima zino ezimazeeko abatuuze emirembe, zirya amatooke, kasooli, emiyembe n’ebirala, era nga bano kati baasalawo ebirime byabwe naddala amatooke okugasibako obukutiya, bagataase okuliibwa enkima zino.
Abatuuze bali mu bweraliikirivu, bagamba nti enjala ani amuwadde akatebe, yandibazinda olw’ensonga nti amatooke gaba gaakateekako, enkima ne zigarya gonna.

Bano basabye abakulembeze baabwe naddala abatwalala ebyobulimi mu disitilukiti ,okubataasa ku nkima ezibafuukidde ekizibu.










