• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Emyaka 25 egya Stena Hill School: Bategese Olusiisira lw’Ebyobulamu

Gambuuze by Gambuuze
March 20, 2026
in Amawulire
0 0
0
Emyaka 25 egya Stena Hill School: Bategese Olusiisira lw’Ebyobulamu
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Makindye – Kyaddondo

Minisita w’Ebyobulamu mu Bwakabaka bwa Buganda Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko akubirizza abantu ba Kabaka okufaayo okwekebeza endwadde okumanya bwe bayimiridde olwo bazirwanyise nga tezinakula.

Obubaka buno abuyisiza mu Ssaabawolereza w’Obwakabaka era omu ku bammemba ba bboodi y’ekitongole ki Kabaka Foundation Oweek. Christopher Bwanika mu lusiisira lw’ebyobulamu olutekegeddwa ku ssomero lya Stena Hill School erisangibwa e Makindye-Lukuli, Nanganda ng’emu ku nteekateeka y’okujaguza emyaka 25 essomero gye limaze nga liweereza abantu mu byenjigiriza.

Stena Schools bategese olusiisira lw’ebyobulamu nga bakwataganye n’ekitongole ki Kabaka Foundation mwe baweeredde obujjanjabi obw’obwerere ku ndwadde ez’enjawulo.

Minisita Choltilda akubirizza abantu okwekebeza okumanya endwadde ezibaluma n’akikaatiriza nti Ssaabasajja Kabaka ayagala abantu be nga balamu era yebazizza nnyo enteekateeka eno etunuuliddwa okumanyisa abantu bwe bayimiridde ku nsonga z’obulamu bwabwe.

Ku lulwe, Ssaabawolereza wa Buganda era omu ku batandisi b’amasomero ga Stena, Oweek. Christopher Bwanika agamba nti olwokuba Ssaabasajja abakubiriza abantu be okukuuma obulungi obulamu, y’ensonga lwaki ebikujjuko bino bajjanjabiddemu abantu nga ekirabo kye badizza abantu ababawagidde ebbanga lino lyonna.

Akulira ekitongole Kabaka kya Kabaka Foundation Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala alaze abantu wa ekitongole kino we kituuse mu kuweereza abantu ba Nnyinimu nga kituusa obujjanjabi ku bantu okulaba nga tebafiira mu mayumba gaabwe olw’endwadde. Ono era yebaziza abakulira essomero Stena Schools olw’okutunuulira ebyobulamu ng’agamba nti abantu bangi tebasobola kwejjanjaba ekibaviirako okukosebwa mu bulamu.

Obujjanjabi obuweereddwa abantu mubaddemu okubakebera sukaali, amaaso, omusujja gw’ensiri, okukebera nnalubiri, mukenenya, okugaba omusaayi n’ebirala.

Ekitongole ki Kabaka Foundation mu nteekateeka eno kiyambiddwako abakugu mu by’obulamu okuva mu malwaliro ag’enjawulo okuli Kiruddu, Mengo, Hana Eyes Clinic, n’amalala era bantu bangi abeyiye ku ssomero lino okufuna obujjanjabi, okwebuuza, okwekebeza n’okusomesebwa ku ndwadde ezitali zimu.

Ebikujjuko by’okujaguza emyaka 25 bikyagenda mu maaso nga olunaku lwa bbalaza ssabbiiti ejja, wagenda kubaawo bulungibwansi mu nzigotta z’e Makindye nga basomesa abantu obuyonjo era Minisita wa Bulungibwansi mu Bwakabaka Oweek. Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo yajja okukulemberamu ate olwo nga 25 omwezi guno ebeere entikko y’ebijaguzo nga Katikkiro Oweek. Charles Peter Mayiga y’agenda okuba omugenyi omukulu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.