Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda busabye gavumenti okutekesa mu nkola amateeka agafuga abakola enguudo bakendeeze ku bukyafu obuyingira omukka abantu gwe bassa.
Okusaba kuno kukoleddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki bw’abadde aggulawo omusomo ku ngeri y’okukuumamu empewo abantu gye basa nga nnungi.

Omusomo guno gutegekeddwa Obwakabaka nga buyita mu Minisitule ya Bulungibwansi n’Obutondebwensi ku Bulange e Mmengo wansi w’omulamwa “Empewo bwe Bulamu” nga gwetabiddwamu abateesiteesi b’Amasaza g’Obwakabaka.
Owek. Kawuki agamba nti abakola enguudo bakozesa ebintu ebivaamu omukka omubi kyokka nga tewali biguziyiza kugenda mu bantu ky’agambye nti kiviirako abantu okufuna endwadde ez’enjawulo.
“Nsaba gavumenti eteeke mu nkola etteeka ku bantu abakola enguudo ne batayiwamu mazzi ekiviirako enfuufu okusituka ng’ate mbi eri obulamu bw’abantu ekyongedde n’obubenje obusse abangi,” Oweek. Kawuki.
Minisita Kawuki era asabye abateesiteesi mu masaza abeetabye mu musomo guno okuddayo okuteeka mu nkola enteekateeka y’okubangula abantu mu bye balina okukola okulongoosa omukka gwe bassa n’akikaatiriza nti empewo embi kabaate kennyini eri obulamu bw’abantu era bangi baluguzzeemu obulamu.

Minisita wa Bulungibwansi ne Butondebwansi Owek. Mariam Mayanja Nkalubo yebazizza bannamukago bano abazze mu musomo guno era asabye abantu okwongera okusimba emiti n’obutoonoona ntobazzi kubanga bino by’ebimu ku biyamba okuggyawo empewo enkyafu.
Prof. Rebecca Larson akulembeddemu enteekateeka eno okuva mu University of Wisconsin -Madison esangibwa mu ggwanga lya America ategeezezza nti omukka ogussibwa gulimu obulabe bwa maanyi nga kino kiva ku bintu ebikozesebwa okugeza nga omukka omubi oguva mu mmotoka, mu bintu eby’okebwa n’ebirala bingi.
Prof. Melina Platas okuva mu University of New York ey’e Abu Dhabi ategeezezza nti buvunanyizibwa bwa buli muntu okukozesa ebintu ebitakosa butondebwansi okusobola okufuna omukka omulungi era n’ategeeza nti baakwongera okukwatagana n’Obwakabaka okumanyisa abantu ku bye balina okukola okufuna omukka omulungi.
Omukwanagannya wa butondebwensi mu Bwakabaka Muky. Teddy Nabakoza Ggaliwango agamba nti basazeewo okuleeta omusomo guno kubanga okusinziira ku bibalo by’abakugu biraga nti omukka ogussibwa bannayuganda ssi mulungi nga kiva ku kwonoona butonde de bwa nsi.









