Bya Miiro Shafik
Mawogola
Empaka z’eggombolola mu Ssaza Mawogola zikomekkerezeddwa era nga ekikopo ‘Muteesa Cup’ mu mupiira kiwanguddwa eggombolola Ssaabagabo Ntuusi.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’ebitone, Owek. Robert Serwanga Ssaalongo yebazizza abategese Emizannyo erudda eno okulaba nti eggombolola zonna 6 ez’essaza lino zetabye mu kuvuganya.
Owek. Serwanga ategeezeza nti okujjumbirwa kw’empaka z’eggombolola kuwa essuubi nti empaka endala nga ez’amasomero, ez’ebika n’eza amasaza zigenda kuliikiribwa bulungi n’abazannyi abagezeseddwa obulungi era ategeezeza nti mu mwaka guno kigenda kuba kya buwaze buli ttiimu y’Essaza okubaamu abazannyi abazannye empaka z’eggombolola olwo ebitone byongere okusitulwa ku buli mutendera.
“Ssaabasajja Kabaka awa omukisa buli muntu okukola ky’amanyi obulungi era kivuddeyo bulungi wano e Mawogola bwe tulabye abavubuka nga bakozesa empaka z’eggombolola okwolesa ebitone byabwe n’okubisitula” Minisita Serwanga.
Minisita taleseeyo kujjukiza Bannamawogola nti ekiseera Buganda ky’erimu kya kusitula mutindo nga buli afungiza okutagatta omuwendo kw’ekyo ky’akola live ku ddala erimu okudda ku ddala. Ono akubirizza buli muntu okumanya nti okuzza Buganda ku ntikko buvunaanyizibwa bwa buli omu, nga kino kitegeeza buli muntu alina okusitula embeera ze n’ekitundu kye.
Omumyuka wa Muteesa Omw. Godfrey Lule Ssenkungu, ku lwa Muteesa John Kankaka, yeyanzizza Kabaka olw’enteekateeka ze yateekawo eri Obuganda naddala nga zinyweza obumu mu bantu be nga mu zino mwe mu n’empaka z’eggombolola. Ategeezezza nti empaka zino musingi kwe bagenda okwongera okuzimbira obumu mu bantu b’e Mawogola n’okubakumaakuma banywerere ku Nnamunswa. Ono yebazizza bonna abakoledde awamu mu nteekateeka wamu n’abeetabye mu mizannyo gino naddala abavubuka baagambye nti ku bbo Buganda ey’enkya kw’eyimiridde.

Ggombolola Ssaabagabo Ntuusi ekubye Musaale Lwebitakuli ggoolo 2-0 okuwangula ekikopo mu mupiira ogw’ebigere, mu kubaka, Musaale Lwebitakuli yewangudde ekikopo bw’ekubye Lugusuulu obugoba 40-23. Lwebitakuli era ewangudde ne mu mweso nga okutuuka ku buwanguzi ekubye Mijwala.









