Bya Miiro Shafik
Buweekula
Emizannyo gy’Eggombolola mu Buganda 2026 zitandike mu ssaza Buweekula n’empiira 2 wakati w’eggombolola nnya (4). Musaale Kiyuni ekubye Mutuba I Kitenga ggoolo 1-0 ate Mumyuka Bagezza nayo n’ekuba Ssaabagabo Kasambya 1-0.

Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo mu kutongoza ategeezezza nti emizannyo gino egitandise leero nga 14/02/2026 gigenda kuzannyibwa mu ggombolola za Buganda zonna 175 okutuusa mu mwezi ogwokusatu nga guggwako. Bwatyo akunze abantu ba Buganda okuzijjumbira mu bungi.
“Olunaku olwa leero tutongozza empaka z’eggombolola 2026, ze tusuubira nti zigenda kubeera za ttuttumu okusinga n’ezomwaka oguwedde. Omwaka oguwedde abazannyi 4175 be bazannya empaka ez’eggombolola okuva mu ggombolola za Buganda zonna 175, kitegeeza nti emipiira gy’eggombolola kya ttunzi nnyo” Minisita Serwanga.

Minisita Serwanga agamba nti emizannyo gino girina ebigendererwa bingi ddala okuli, okuwa abavubuka omukisa okwezuula n’okusitula ebitone byabwe, omwaganya okuvuganya okuzuula abakize ku balala okwetaba mu mizannyo gya Buganda egy’amasomero, Ebika, Amasaza n’emirala.
Owek. Serwanga asabye abagenda okwetaba mu mizannyo gino okweyisa obulungi ng’agamba nti singa bagikwata bulungi kiwa abantu omukisa okusitula ebitone ebisobola okubatwala n’okutuuka ebweru w’eggwanga. Ategeezezza nti mu nteekateeka empya eya Situla Omutindo buli kikolebwa nga okubaka, omweso, okusamba omupiira n’ebirala birina kukolebwa ku mutindo.

Ye Omwami w’Essaza Buweekula, Owek. Ssempijja Andrew Mukasa alaze essanyu okuba nti be balidde empanga mu kuggulawo emizannyo gy’omwaka guno. Ategeezezza nti kino kigenda kwongera amaanyi mu bavubuka okumanya nti omupiira gusobola okubasitula ne gubafuukira omulimu. Bwatyo abakubirizza okwolesa omutindo omulungi.
Luweekula asinzidde wano n’awera nti bagenda kweddiza ekikopo ky’Amasaza kye baatwala omulundi gwabwe ogwasookera ddala mu mwaka oguwedde nga beyambisa emizannyo gy’eggombolola okuzuula ebitone.









