Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka 2026 nga gino gya kubaawo nga 12/04/2026 ate era atongozza n’omujoozi ogugenda okuddukirwamu omwaka guno.

Katikkiro akoowodde Bannayuganda bonna obutassa mukono mu ku bunyisa n’okusasanya amawulire agakwata ku kulwanyisa obulwadde bwa mukenya kubanga ekiruubirwa ky’okulaba nga obulwadde buno bufuuka lufumo mu mwaka 2030 kibulako ebbanga ttono nnyo. Bino abyogeredde ku Mbuga y’Obwakabaka enkulu Bulange e Mmengo.
“Okumanyisa abantu ebikwata ku mukenenya ky’ekyokulwanyisa ekikulu kye tusinga okuba nakyo mu kulwanyisa obulwadde buno era buli lwe tugula emijoozi ne tudduka, twongera okusasaanya eddoboozi lya Kabaka ku kulwanyisa mukenenya” Katikkiro Mayiga.
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yasiima buli mwaka mu kujaguza amazaalibwa ge wabeewo okudduka emisinde nga ensimbi ezivaamu zissibwa mu by’obulamu ku miramwa egy’enjawulo. Kati omwaka guno gugenda kuba mulungi gwa ku taano nga emisinde giddukibwa n’omulamwa ogw’okulwanyisa mukenenya era nga emisinde gy’omwaka guno gya mulundi gwa 13 bukyanga gitandikibwawo.

Mukuumaddamula asinzidde wano n’akubiriza Banayuganda bonna okwongera okubeera abasaale mu kubunyisa amawulire agakwata ku kulwanyisa mukenenya, era akoowodde Obuganda ne Bannayunda bonna okugula emijoozi mu budde basobole okwetaba mu misinde gino. Kamalabyonna asabye n’ebitongole eby’enjawulo okwegattira ku nsonga eno egendererwamu okutaasa obulamu.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era nga ye Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emisinde gy’omwaka guno Oweek. Twaha Kaawaase Kigongo yeyanzizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima ye n’olukiiko lwe okukulemberamu enteekateeka zonna era n’asuubiza nti baakukola obuvunanyizibwa bwabwe mu bwesimbu bateekewo emisinde egigenda okubeera egy’enjawulo okwawukana ne ku mirundi egiyise. Ono naye akoowodde abantu okugula emijoozi mu budde era n’ategeeza nti abanaagula emingi mu budde bajja kusalirwako ku miwendo.
Dr Ruth Ssenyonyi okuva mu Uganda Aids Commission agamba nti omwaka guno obuufu baakubussa mu kulaba nga teri baana bato bazaalibwa na bulwadde buno, era buno bwe bubaka obukulu bwe batambuza naddala mu bakyala b’embuto n’abo abazaala nga balina akawuka kano. Ategeezezza nti kino kya kubayamba okukendeeza ku muwendo gw’abasiigibwa.
Soumendra Sahu Ssenkulu wa Airtel mu Uganda era nga be bavujjirizi abakulu ab’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, asabye bannayuganda bonna okwettanira emisinde gy’omwaka guno nga badduka ku lw’okutaasa abaagalwa baabwe.
Fred Kalungi Kabuye okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’edagala mu ggwanga asabye abantu bonna abawangaala n’akawuka okwewala okufuna eddagala okuva mu bantu abatakakasiddwa kitongole kino beewale embeera eyinza okubaviiramu okukosa obulamu bwabwe.









