• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka n’emirala gyonna mu Buganda giyimiriziddwa lwa Coronavirus

Gambuuze by Gambuuze
March 19, 2020
in Amawulire
0 0
0
Emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka n’emirala gyonna mu Buganda giyimiriziddwa lwa Coronavirus
0
SHARES
21
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro Charles Peter Mayiga

Musasi Waffe

Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka agabadde gagenda okubaawo nga Apuli 13 ku Lutikko e Lubaga wamu n’emisinde mubuna byaalo egibadde gigenda okubeerayo nga Apuli 5 nagyo gisaziddwamu lwa senyiga wa Coronavirus.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter ng’asinziira ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo ategeezezza Obuganda nti Kabaka ayagala abantube nga balamu n’olwekyo Obuganda bwa kugoberera ebyo ebyalangiriddwa gavumenti munteekateeka yaayo ey’okulwanyisa ekirwadde kino ekitabadde amawanga.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eggulo yategeezezza eggwanga nti gavumenti eyimirizza enkungaana zonna ezirimu abantu abangi.       

Museveni yalagidde amasinzizo n’amasomero gonna okuggalwa okwetooloola eggwanga lyonna. Kuno kwossa, ebirabo by’omwenge, n’ebiduula.

Museveni era yagambye nti n’emukuziika banganda bokka bebateekeddwa okukikola.

Wano Oweek. Mayiga wasinzidde okulangirira nti emikolo gy’Obwakabaka gyonna giyimiriziddwa.

“Olunaku lwajjo mwawulidde pulezidenti ng’abaako ennambika gyakola, ekyamazima obulwadde buno bwa bulabe nnyo sirwakuba nti busse abantu abasinga obungi naye abatono ababa bakwatiddwa obulwadde buno tebawona,” Mayiga bwagambye.

Newankubadde ng’emisinde gisaziddwamu, Katikkiro akubirizza abantu okugenda mu maaso n’okugula emijoozi kubanga obulwadde bwekinalaangirirwa nti buweddewo, Omutanda wakusimbula emisinde gino.

Ku matikkira, Katikkiro asabye abantu ku lunaku lwa Apuli 13, okwambala emijoozi gy’emisinde, beekubye ebifaananyi babiteeke ku mitimbagano okulaga nti bali wamu ne Kabaka waabwe.

“Nga Apuli 13 ab’e Lubaga bagya kuwa obubaka ku mikutu gya TV ne leediyo Ssaabasajja Kabaka ng’asabirwa era nange nja kuwa obubaka obukwata ku Ssaabasajja Kabaka . Nsaba era abakulembeze b’eddiini bonna gyebali basabire Ssaabasajja Kabaka ku lunaku lwe bw’anaba awezezza emyaka 65,” Mayiga bwagambye.

Akubirizza n’abantu okugoberera ennambika eyalagiddwa gavumenti okusobola okwetangira obulwadde buno.

Ekirwadde kya Coronavirus kizinzeeko ensi yonna nga kati kyakatta abantu abagenda mu 8000 ng’ate abalala 200,000 kyamaze dda okubayoola.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist