Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Emisinde egikulembera amazaalibwa ga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II egy’omulundi ogw’ekkumi n’esattu (13) gitongozeddwa, abantu ba Beene bonna abagenda kugyetabamu bakubiriziddwa okugula emijoozi mu budde.
Ku mukolo gw’okugitongoza, ssentebe w’enteekateeka y’emisinde gino era Omumyuka Asooka owa Katikkiro Prof. Twaha Kigongo Kaawaase alangiridde ebbeeyi empya ey’emijoozi gino, emitwalo ebiri n’ekitundu (25,000) era emijoozi gyatuuse dda ku katale.
Oweek Kaawaase akuutidde abo bonna abamanyi nti baakudduka emisinde gino okwanguwa okwefunira omujoozi mwe banaddukira
“Abantu bonna mu ggwanga bagenda kuggwayo okudduka emisinde gino era ffe tugamba omwangu yatta enswa ate ne linda kiggweyo afumita mukira ate era n’enyonnyi enkeeze y’erya esiringanyi, kale mukwate emijoozi gyammwe nga bukyali awatali kulinda kuba tukirabye emirundi mingi nti abantu bajja kikeerezi ne babaseera kale ffe tutandise mangu jangu otwale akajoozi kko” Owek Kaawaase.
Mu ngeri y’emu Oweek. Kaawaase alangiridde olunaku lwa nga 12/04/2026 lwe lunaku emisinde gy’omwaka lwe ginaabaayo ate nga lwe lunaakulembera okujaguza emyaka 71 egy’ekitiibwa egya Nnyininsi Buganda omwaka guno.

Mu kutongoza emisinde gino, Katikkiro Charles Peter Mayiga akunze abantu bonna okwetaba mu misinde gy’omwaka guno wamu n’okufuba okusaasanya amawulire agakwata ku siriimu mu bantu ba Buganda bonna, ekiruubirirwa ky’okumumalawo 2030 wegunaatukira kisobole okutuukibwako.
Emisinde gy’omwaka guno era giri ku kulamwa gwa kulwanyisa mukenenya, abasajja nga be bakulembeddemu, gino era girimu kilomita 5, 10 ne 21 okusinziira ku buli omu bw’anaaba ayagadde oba obusobozi bwe buli.









