• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Embiranye ku kifo kya Mmeeya wa Masaka, buli omu awera

Gambuuze by Gambuuze
December 14, 2020
in Amawulire
0 0
0
Embiranye ku kifo kya Mmeeya wa Masaka, buli omu awera
0
SHARES
18
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Muwuluzi Yusuf

Masaka – Buddu

Embiranye yeeyongedde ku ani alina okutwala ekifo kya mmeeya wa Masaka City, nga w’osomera bino nga abavuganya abawerera ddala 9 era buli omu amatiza abalonzi okulaba nga bamuwandako eddusu atuuse ekibuga kya Ssaabasajja Kabaka ku mulembe.

Florence Namayanja, Emmaneul Lwasa ne Bamwesigye Willis

Kino kiddiridde Masaka okusuumusibwa n’eteekebwa ku mutendera gwa City kiganyule disitulikiti 9 eziri mu ssaza lya Beene erya Buddu awamu n’ebibuga ebirala 6 okuli; Arua, Gulu, Jinja, Mbarara, Fort Portal ne Mbale.

Abavuganya ku kifo ky’obwammeeya wa Masaka City asookedde ddala bawerera ddala 9 okuli;  Mbabali James Lumbuye (FDC), Kabanda Charles (DP) ne Namayanja Florence (NUP).

Abalala ye Ssembajja Muhammad, Bamwesigye Willis Mbabazi (NRM), Kabiswa Pius Kirwowa, Ssengabi Francis, Lwasa Emmanuel Kaweesi ne Kaweesi Robert Danny.

Bano buli afuna omukisa talemwa kutegeeza bantu lwaki ye mutuufu alina okukulembera Masaka City era nga bagezaako nnyo okulambulula entegeka zaabwe eri ekibuga kino nga baziguza bannamasaka.

“Okuzimba ekibuga Masaka kyetaaga okukolera awamu, kyetaaga amaanyi mangi, kyetaaga amagezi mangi, kyetaaga okukolera awamu, kyetaaga obumanyirivu nga bwenina.

Kuba nabeerako omumyuka wa Mmeeya mu KCC era baddeko mu gavumenti ez’ebitundu, Palamenti wamu n’ebitongole noolwekyo nina enkizo okuweereza bannamasaka obulungi.” Bw’atyo Florence Namayanja nga ye mubaka wa Bukoto East mu Palamenti bwe yategeezezza.

Ye akwatidde NRM kkaadi ku kifo kino Bamwesigye Willis Mbabazi, yagambye nti, “Abavubuka nga bwe mubalaba bangi tebalina mirimu. Tugenda kulwana okulaba nga bonna bafuna emirimo.” Bamwesigye bw’atyo bwe yasuubizza Bannamasaka singa anaaweebwa omukisa.

Ate ye atalina kibiina kw’ajjidde, Lwasa Emmanuel Kaweesi, yagambye nti alina ettoffaali ly’atadde ku kuzimba Masaka era nga singa anaalondebwa bannamasaka bajja kuba bafunye omuntu anaabakulaakulanya.

Lwasa yeeyamye okukozesa emikwano gy’alina asikirize Bamusigansimbi okujja batandikewo amakolero bannamasaka bafune emirimu n’enkulaakulana.

Alina bbendera Democratic Party (DP), Charles Kabanda, asuubizza okukyusa embeera y’ekibuga Masaka era ayambe okuwa abantu enkulaakulana ng’ateeka essira ku by’obulamu n’ebyenjigiriza.

Mu kalulu kano embiranye ey’amaanyi eri wakati wa  Munnakibiina kya NUP; Florence Namayanja, Omusuubuzi Lwasa Emmanuel,  Owa DP Charles Kabanda ne Bamwesigye Willis Mbabazi ali ku kkaadi ya NRM.

Wadde ng’okulonda kubulako omwezi gumu abalonzi mu bitundu ebikola Masaka City bagamba nti, abeesimbyewo tebabamanyi bulungi era nga tebannafuna mukisa kubasisinkana kumanya birowoozo byabwe.

“Tetulina kye tumanyi tuli awo bwetutyo, okulonda kugenda kutuuka ebintu tubitabule.” Omukadde Kiggwa Joseph ow’oku kyalo Kayamuyimbwa mu ggombolola y’e Kimaanya-Kabonera bw’atyo bwe yategeezezza.

Ekibuga kya Ssaabasajja Kabaka kino kisuubira okuganyula disitulikiti eziwera 9 mu ssaza ly’e Buddu era ng’okusinga abantu bamwo beesigamye ku bulimi  na bulunzi.

Wano abamu ku beesimbyewo we basinzidde ne basuubiza okwongera ku mutindo gw’ebirime n’okutondawo amakolero, kikendeeze ku bbula ly’emirimu era ng’ekirindiriddwa kwe kulaba ani anaawangula emitima gya Bannamasaka mu kalulu ka 2021.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.