• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ekisaakaate Gatonnya  2025 kitandise, Abasoba mu 600 bebagenda okubangulwa

Gambuuze by Gambuuze
January 4, 2025
in Amawulire
0 0
0
Ekisaakaate Gatonnya  2025 kitandise, Abasoba mu 600 bebagenda okubangulwa
0
SHARES
38
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafik Miiro

Bulange – Mmengo

Abasaakaate abasoba mu 600 bebasimbuddwa okwolekera essomero lya  Janan School e Bombo mu Bulemeezi gyebagenda okumala akabanga nga babangulwa ku nnono z’obuntubulamu wamu n’emirimu egitali gimu.

Bano batuuse ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo ku makya g’Olwomukaaga era baaniriziddwa Minisita wa woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Cotildah Nakate Kikomeko wamu n’abakungu abalala aba Nnabagereka Development Foundation.

Mu kwogerako gyebali, Minisita Kikomeko yeebazizza  abazadde olw’okujjumbira enteekateeka eno, gy’agambye eyamba nnyo kubanga  abaana bagunjulwa mu bintu eby’enjawulo omuli; Obuntubulamu, okukolgana ne bannaabwe mu mirimu, okuyiga obuwangwa, ennono ne tekinologiya ng’era omulamwa gw’omwaka guno bwe guli.

Owek. Nakate yeebaziza Nnaabagereka Sylvia Nagginda olw’enteekateeka eno gy’agambye nti egasse ku bulamu bw’abantu bangi mu mirundi ekkumi n’omusanvu (17) egiyise nga ku guno ogw’ekkumi n’omunaana (18), ebibala byakwongera okulabwa.

Ssenkulu wa Nnabagereka Development Foundation, Omuk. Adrian Mukiibi, alambuludde ku mulamwa gw’ekisaakaate 2025, ategeezeza nti ensi ensangi zino yeetanidde nnyo tekinologiya, ekireetaawo okwebuuza butya obuwangwa bwebusobola okukuumibwa mu nsi ekyukakyuka.

Omuk. Mukiibi  agamba nti abaana bagenda kuweebwa obusobozi okutegeera obulungi tekinologiya ne bwebasobola okumukwanaganya n’obuwangwa bwabwe, bongere okubutegeera n’okubagazisa abalala.

Ye Ssaabagunjuzi w’ekisaakaate, Owek. Rashid Lukwago ategeezezza nti Ekisaakaate kizze kitambulizibwa ku miramwa egy’enjawulo era nga ne ku mulundi guno omulamwa ogwalondeddwa gugendererwamu kunnyikiza ensonga ya butya omwana bw’asobola okweyambisa tekinologiya okutumbula Obuwangwa. Ayongeddeko nti Abasaakaate baakuyambibwako okwezuula obusobozi bwabwe mu bintu eby’enjawulo olwo babikozese okwesitula mu bulamu obwa bulijjo.

Kitegeerekese nti ku ssomero lya Janan wagenda kubaayo emisomo egy’enjawulo okuva mu bagunjuzi abawerera ddala 100, era mu biseera eby’enjawulo Maama Nnaabagereka asuubirwa okulambula abaana bano naye abeeko emisomo gy’abawa, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye bwatyo n’abagenyi n’abantu abalala.

Ekisaakaate 2025 kyakumala ssabbiiti bbiri (2) okuva nga 4-18 Gatonnya era kyakutambulizibwa mu mulamwa ‘Okukwanaganga Obuwangwa ne Tekinologiya’.  Kino kyetabwamu abaana wakati w’emyaka 6-18, abawala n’abalenzi nebabangulwa mu bintu ebyenjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.