
Musasi waffe
Ng’ensi yonna ekyagenda mumaaso n’okugoyebwa ekirwadde kya Coronavirus ekimanyiddwa nga COVID-19, ne mu Uganda kirangiriddwa nti kituuse.
Ku saawa nga 11:30 ez’ekiro, minisita avunanyizibwa ku by’obulamu Jane Ruth Acheng yategeezezza eggwanga nti omusajja ow’emyka 36 eyabadde ava e Dubai mu United Arb Emirates yeyasangiddwa n’ekirwadde kino.
Ono yava mu ggwanga nga Marhc 17 okugenda e Dubai ku nsonga z’obusuubuzi.
Bweyekebejjeddwa n’asangibwa nga ayokerera, omusaayi gwamujjiddwako ne gutwalibwa ku Uganda Virus Research Institute gyekyazuuliddwa nti yabadde ne senyiga ono.
Acheng yategeezezza nti omulwadde ono gwatayatuukirizza linnya mutuuze w’e Kibuli mu Kampala era nga kati yatwaliddwa mu ddwaliro ly’e Entebbe gya jjanjjabibwa.
Abasaabaze bonna beyazze nabo ku nnyonyi ya Ethiopian Airlines bonna bagenda kulondoolwa okulaba nga teri alina COVID-19.
Bino webijjidde nga tewanayita yadde olunaku nga Uganda erangiridde nti ensalo zaayo zonna ziggaddwa.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eggulo lyaleero era agenda kuddamu okwogerako eri eggwanga ku biki ebirala abantu byebalina okukola okwetangira olumbulege luno.








