Bya Ssemakula John
Kalungu
Eyeegwanyiza okukwatira ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), bbendera okuvuganya ku bwapulezidenti mu kalulu ka bonna aka 202, Eng. Patrick Oboi Amuriat, ategeezezza ng’eggwanga bwe lyetegese okukyusa obuyinza okuva mu mikono gya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alifugidde emyaka egisoba mu asatu.
Bino Amuriat abibuulidde bannakibiina kya FDC e Kalungu ku Ssande eno bw’abadde awenja akalulu ne munne bwe bavuganya ku kkaadi y’ekibiina, Ambasada Wasswa Biriggwa nga babadde bawerekeddwako Ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Nathan Nandala Mafabi.
Oboi asabye bannakibiina bamwesige bamukwase kkaadi asobole okumaamuluka Pulezidenti Museveni kubanga obubonero bwonna bulaga nti bannayuganda beetegekedde okukyusa obuyinza mu buli ngeri yonna esoboka.
Ye Ambasada Biriggwa asuubizza okugatta bannayuganda abeeyawudde ennyo ensangi zino mu mawanga, eddiini wamu n’ebyobufuzi.
Biriggwa era asuubizza bannakalungu okutumbula ebyobulimi ng’ayitira mu kuzzaawo ebibiina by’obwegassi awamu n’okufuba okulaba nga buli kitundu kya ggwanga essira kiriteeka ku kulima ekyo kye basinga okutegeera era bw’atyo n’asaba bamwesige bamuwe kkaadi.
Bannakibiina mu kitundu kino batenderezza obumu obwoleseddwa ababiri wano wakati mu kunoonya kkaadi y’ekibiina era nebabakuutira okugenda mu maaso n’enkola eno n’akalulu nga kawedde, kitwale ekibiina kyabwe mu maaso.
Ssaabawandiisi w’ekibiina, Mafabi wano w’asinzidde ku mukolo guno n’ayanjula abagenda okukwatira ekibiina kkaadi ku mitendera egy’enjawulo era nga ku bano kuliko; Mackline Mbaasa eyagala eky’omubaka omukyala owa Kalungu, John Vienny Ayebale ayagala bwassentebe bwa Disitulikiti n’abalala.