• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Eby’okuwamba abantu mubiggyeemu eby’obufuzi, mubayimbule – Kkangaawo Mulondo

Gambuuze by Gambuuze
March 23, 2021
in Amawulire
0 0
0
Eby’okuwamba abantu mubiggyeemu eby’obufuzi, mubayimbule – Kkangaawo Mulondo
0
SHARES
96
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula

Bulemeezi                                                                                                          

Omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo, asabye gavumenti okuggya eby’obufuzi mu nsonga z’abantu abawambibwa wasobole okubaawo obwenkanya eri abantu bano.

Abamu ku bakulembeze abeetabye mu nsisinkano eno

Kkangaawo Mulondo ayagala abakwate basimbibwe mu kkooti eziragirwa mu mateeka mu kifo ky’okubakuumira mu bifo ebitamanyiddwa ekirinnyirira eddembe lyabwe.

“Tetuwakanya muntu mumenyi w’amateeka kukwatibwa naye tugamba nti omuntu bwakwatibwa ng’alina etteeka ly’amenya, atwalibwe avunaanibwe mu kifo ekimanyiddwa obulungi era aweebwe ekibonerezo ng’amateeka bwegalagira.” Kkangaawo Mulondo bwe yasabye.

Kkangaawo yagasseeko nti akadde katuuse bakolere wamu nga bannabulemeezi era babeeko ekintu eky’enkizo kye bamanyibwako, okusobola okutwala essaza lino mu maaso.

Kkangaawo Ronald Mulondo

Okusinziira ku Kkangaawo Mulondo, mu nsisinkano eno bakubaganyizza ebirowoozo ku by’obulamu, ebyenjigiriza n’ensonga endala zonna n’ekigendererwa ky’okukyusa embeera z’abantu ba Kabaka mu kitundu kino.

Ono yabasabye okwegattira awamu awatali kusososola mu nzikiriza za byabufuzi, basobole okukyusa ekitundu kyabwe era bakkaatirize eddoboozi eryawamu. Bo abeetabye mu nsisinkano eno okuli; Omubaka Ssekabira Dennis owa  Katikamu North  n’owa Katikamu South  Hassan Kirumira, bagambye nti ebikolobero bingi ebigenda maaso mu ggwanga nga byonna byetaaga okulwanyisibwa awatali kubiyingizaamu byabufuzi.

Ate ye omubaka omulonde owa Nakaseke Central, Allan Mayanja Ssebunnya, yategeezezza nti ekiseera kino kyakusitula abantu b’e Bulemeezi abasembayo wansi awatali kusosola.

Abakulembeze bano era baasiimye Kkangaawo olw’ensisinkano eno bwebatyo ne beeyama okutwala Bulemeezi ku ntikko.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist