Musasi waffe
Owek David Kyewalabye Male, Minisita avunanyizibwa ku by’Obuwangwa Ennono n’Obulambuzi agambye okumanya amaanyi g’ekika kirina okuba nga kirina ekibumbe kyakyo Ku Kabaka anjagala.
Luno lwe luguudo olugatta Bulange ku Lubiri e Mengo olumanyiddwa nga Royal Mile.
Bwabadde ayogera mu kussaawo ebibumbe by’ebika ebirala musanvu ebyongeddwako kwebyo 26 ebiri ku luguudo luno, Kyewalabye agambye nti kino kigenda kutumbula eby’obulambuzi muggwanga.
“Tusuubira nti n’ebika ebirala ebitannateekayo ssente zaabyo okukikola ebibumbe ebirala bibe nga bisobola okwongerwayo. Abantu abamu tebamanyi bika byabwe bwebifaanana era tubiteeka wano basobole okubiraba naddala ababa bazze wano okulambula. Njagala okwebaza ebika ebyo omusanvu ebifubye okulaba nti ebibumbe byabyo bibeera wano. Era nkubiriza ebitannaba kukikola,kubanga amaanyi g’ekika ogalabira mukubanga basobodde okuteeka ebibumbe wano. Nkubira omulanga bajjajja abataka bakole ku nsonga eno,” Oweek. Kyewalabye bwategeezezza.
Mu bibumbe ebireeteddwa kuliko, AKayozi, Nkusu, Nkerebwe, Obutiko, Ngaali, Enjaza n’Enjobe.
Bino biwezezza omuwendo gwa bibumbe 33 ebyakateekebwa ku Kabaka anjagala.
Kyewalabye agambye newankubadde ng’ensi eri ku muggalo, Obwakabaka busigala bukola emirimu gyabwo tebuyimirira.
Minisita era ategeezezza nti bali mu kwogeraganya n’abakugu okulaba ng’ebibumbe bino biteekebwamu obutambi obukwata ku bika byabwe ng’abazzukulu basobola okujja nebanyigako nebamanya ebifa mu kika kyabwe.
“Kabaka bwaba ayita mu Kabaka anjagala abataka bakungaana mu bibanja byabwe naye kati bajja kubeeranga mabega wa bibumbe byawe,” Kyewalabye bwagambye.