Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Abaami b’Emiruka mu Bulange e Mmengo n’abakuutira okutambulira mu mitendera gy’obukulembeze nga bwegirambikibwa mu nteekateeka y’Obwakabaka.

Mu nteekateeka y’obwakabaka obukulembeze buviira ddala ku Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku butongole, emitendera gino gyateekebwawo bajjajja ba Buganda abaasooka kisobozese okuteekateeka obukulembeze obunywevu obwesigamiziddwa ku nfuga ya gavumenti ez’Ebitundu.
Emitendera gino giva ku byalo, Emiruka, eggombolola, Amasaza, okutuuka ku Minisita, Katikkiro agatta Abaami bonna ku Ssaabasajja.Mu kwogera kwe gye bali Kamalabyonna asabye Abaami b’Emiruka okwewala okubuuka amakyo wabula batambulire mu nteekateeka eyo.
Mukuumaddamula ategeezezza nti Abaami b’Emiruka balina omulimu munene okulungamya abatongole, era bwe babeera ku mirimu gy’Obwakabaka balina kugendera ku bigambo bya Ssaabasajja Kabaka era babinywerereko awatali kutabiikiriza birala ebitali bya Kabaka. Abakubirizza okwewa ekitiibwa, beewale okugujubanira eby’okulya, obuteegulumiza, obuyonjo, ate nabo bawe ababakulembera ne be bakulembera ekitiibwa.
Mu ngeri y’emu Kamalabyonna Mayiga asabye abaami b’Emiruka bazimbe obwasseruganda wakati mu baami bannaabwe n’emiruka egikola eggombolola zaabwe. Basseewo ‘WhatsApp group’ bagabane ebirowoozo, bano abalabudde nti bwe batasseewo bwa sseruganda tebajja kusobola kukumaakuma bantu ba Buganda ate nga Abaami ba Kabaka be balina obuvunaanyizibwa okuzza omukwano eri abantu abataaguddwa embeera ye by’obufuzi.

Bano abanjulidde enteekateeka ya Situla Omutindo nti buvunaanyizibwa bwabwe okuginnyikiza mu bantu, abalamululidde ennyingo omukaaga ezigirimu; okutumbula ebyobulimi, okutumbula ebyobusuubuzi, okutumbula ebyobulamu, okutumbula ebyenjigiriza, okusitula embeera z’amaka n’okutumbula ebitone.
Ku mukolo guno, Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asabye abaami okujjumbira okubeera mu bantu Kabaka be yabakwasa, bamanye ebibakwatako, batambuze amawulire g’Obwakabaka n’agafa mu bitundu byabwe kisobozese emirimu egyabawebwa okugguka.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Abaami b’Emiruka okuva mu Masaza gonna mu Buganda, ne Baminisita Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne Minisita Robert Serwanga Ssaalongo bagyetabyemu.









