Bya Ssemakula John
Kampala
Ekibiina kya Democratic Change (DP) kisabye gavumenti ewe bamusigansimbi bannansi omukisa era ebayambeko okusobola okuziba eddibu lya kkampuni z’abagwira ezigenze.
Omwezi oguwedde kkampuni ennene biri okuli Shoprite ne Africell zaalangiridde nga bwe ziggaddewo oluvannyuma lw’okumala akaseera nga tezikola magoba.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokubiri, omuwabuzi w’ekibiina ku nsonga z’amateeka, Luyimbaazi Nalukoola yagambye nti gavumenti esuusuuta nnyo kkampuni engwira ne yeerabira eza wano, ekintu eky’obulabe.
“Kati nga kkampuni zino bwe zigenze, tusuubira gavumenti okuwa bamusigansimbi ba wano omukisa era babakwatireko.” Nalukoola bw’annyonnyodde.
Nalukoola agamba nti amaanyi gonna gavumenti yagateeka ku kkampuni z’abagwira ekyawaliriza bamusigansimbi bannansi okukyusa ssente zaabwe ne baziteeka mu kugula n’okutunda ettaka awamu n’amayumba.
Ono agasseeko nti kizibu gavumenti okulwanyisa ebbula ly’emirimu awatali kuteeka ssente mu byabulimi n’amakolero. Nalukoola asabye gavumenti okuteeka amaanyi mu bamusigansimbi aba wano kuba abagwira kye bakola ekinene kuba kunyunyunta ggwanga.
Gavumenti yavuddeyo wiiki ewedde n’etegeeza nti egenda kunoonyereza ku kituufu ekiviirako kkampuni engwira okudduka mu ggwanga.
Okusinziira ku muteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyensimbi n’enfuna, Ramathan Ggoobi, gavumenti eyagala okuzuula oba waliwo ky’esobola okukola okwetangira bamusigansimbi okwabulira eggwanga.