• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

COVID-19: Gavumenti Eyimirizza Bannayuganda Abakomawo Mu Ggwanga

Gambuuze by Gambuuze
July 3, 2020
in Amawulire
0 0
1
COVID-19: Gavumenti Eyimirizza Bannayuganda Abakomawo Mu Ggwanga
0
SHARES
13
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Abamu ku Bannauganda nga batuuka ku kisaawe Entebbe

Gavumenti eyimirizza okudda kwa Bannayuganda abakonkomalidde mu mawanga amalala olw’ekirwadde kya Coronavirus.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa minisitule y’ensonga z’ebunaayira, okuva enkya nga July 4, teri muntu yenna agenda kukkirizibwa kuyingira ggwanga oluvannyuma lw’ebifo gyebakuumibwa biyite kalantiini okujjula.

Minisitule ekola ku nsonga z’ebyobulamu yassaawo ebifo 37 mu Kampala ne Entebbe abantu bano gyebalina okukuumibwa nga birina ebisenge ebisulwamu 2500.

Kiteeberezebwa nti abantu abasukka 1500 be bagenda okukosebwa enteekateeka eno. 

Bano bali mu mawanga nga Qatar, UAE, China ne Malaysia. Bano babadde basuubirwa okutuuka mu ggwanga wiiki eno.

Ambassador Patrick Mugoya, omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru yategeezezza nti bajja kuddamu okukkiriza Bannayuganda okudda okwaboobwe, oluvannyuma lwa minisitule y’ebyobulamu okukola kwabo abaamaze okudda mu ggwanga.

Kyali kirowoozebwa nti buli sabbiiti bbiri, abantu 300 bebagenda okudda mu ggwanga naye mu sabbiiti emu yokka, abantu abasukka mu 300 bebaakomyewo mu ggwanga.

Bano bonna balina okuteekebwa mu kalantiini okumala sabbiiti bbiri.

Abo abakomyewo bava mu mawanga nga South Africa, Turkey, India, United Kingdom, Switzerland, Italy, Sudan ne United Arab Emirates.

Enkya Bannayuganda okuva e New Dehli mu India basuubirwa okuttuka mu ggwanga.

Kwabo abaakadda, 13 basangiddwamu ekirwadde kya coronavirus.

URN

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist