• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

COVID-19: Abayizi bandisigala ku masomero mu luwummula

Gambuuze by Gambuuze
November 18, 2020
in Amawulire
0 0
0
COVID-19: Abayizi bandisigala ku masomero mu luwummula
0
SHARES
19
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi Waffe

Agamu ku masomero agalina abayizi abali mu bibiina ebimalako omutendera ogwakamalirizo gagenda kusigazaayo abayizi ku ssomero nga tebagenda kudda waka mu luwummula okugezaako okutangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Abayizi bano okuli; aba P.7, S.4, S.6 n’abamaliriza emisomo ku matendekero aga waggulu, baddamu okusoma nga 15/October/2020 oluvannyuma lw’okumala emyezi egiwera mukaaga nga tebasoma olwa Ssennyiga Corona.
Bano bagenda kuwummula nga December 18, 2020, wabula agamu ku masomero galaze okutya ku ky’abayizi okudda awaka mu mbeera eno eya Ssennyiga Corona.

Omu ku bakulira amasomero gano, Mike Sekago, agambye nti balowooza ku ky’okusigaza abayizi ku ssomero olw’okwerinda ekirwadde kya Ssennyiga Corona kuba tebamanyi kiri waka.
“Ekirwadde kino kyeyongedde era tetumanyi kiyinza kutuuka ku bayizi baffe naye ate bw’otunuulira ekiseera kye bagenda okuwummula kitono nnyo, kale nga kisingako okubasigaza ku ssomero.” Sekago bwe yategeezezza.
Sekago yagambye nti bajja kusabayo abazadde akasente akatono akanaabayamba okulabirira abaana bano mu kaseera kano naye era kyakuyamba abaana okusigala nga bejjukanya ku bye basomye.

Ono yawagiddwa akulira ebyensoma ku City Secondary School mu Wakiso, Lawrence Kalyango, eyategeezezza nti baagala Minisitule y’ebyenjigiriza ebakkirize okusigaza abayizi mu luwummula luno kuba bakwataganye n’abayizi ne bakkiriza.

“Bw’eba gavumenti yagaana okugoba abaana ffiizi ng’etya nti ewaka bajja kufunirayo Corona ate lwaki bakkiriza okubasindika ewaka mu luwummula luno olumpi ate ng’ekirwadde kikyaliwo.” Kalyango bwe yannyonnyodde.

Abakungu mu Minisitule y’ebyenjigiriza baategeezezza nga bwe bafunye ekirowoozo kino naye tebasobola kukyusa kalenda kwe batambulira.
Dayirekita w’okusoma okutandikirwako ne ssekendule mu Minisitule, Ismail Mulindwa, yagambye nti okulambikibwa kujja kuva mu Minisitule y’ebyobulamu era nga yejja okubawa kye balina okuzzaako.

Eky’abayizi okusigala ku ssomero abamu ku bazadde omuli Twaha Mukiibi, bakiwagidde naye ne basaba abasomesa obutasaba ssente ndala kuba baabasasuzza ssente nnyingi ate nga ttaamu ebadde nnyimpi.

Omulala Paul Matovu, alina omwana mu P.7 yagambye nti ekirowoozo kirungi singa abasomesa tebaddamu kubaggyako ssente.
Wadde nga ye Halima Shaban agamba nti muwala we ayagala kimu kudda waka kuwummula era y’ensonga enkulu ku ye essaawa eno.

URN

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.