Bya Ssemakula John
Kampala
Bannayuganda abaddusi b’embiro empanvu okuli; Oscar Chelimo, Joshua Cheptegei ne Jacob Kiplimo, bonna bayiseewo ne beesogga fayinolo z’empaka zino eza mmita 5000 eza Olympics eziyindira e Tokyo mu Japan.
Chelimo yakutte kyakuna mu misinde egyasooseewo era ng’addukidde eddakiika 13:39:07, era nga zino ziwanguddwa munnakenya Nicholas Kipkorir Kimeli ( 13:38:87).
Mu ngeri yeemu Cheptegei (13:30:61) ne Kiplimo (13:30:40) bamalidde mu bifo ekyokuna n’ekyokusatu mu misinde egiwanguddwa Muhammad Katir owa Spain (13:30:10) ate nga Paul owa America akutte kyakubiri.
Kimanyiddwa nti mu mpaka zino, abaddusi abataano abasooka beesogga empaka z’akamalirizo ng’ezoomulundi guno zigenda kubeera mu kisaawe kya Olympic Stadium ku Lwokutaano.
Mu mpaka zino eza Olympics 2020, Uganda yaakafunayo emidaali ebiri gyokka okuli ogwekikomo ne Ffeeza nga gyawanguddwa Cheptegei ne Kiplimo mu mpaka za mmita 10,000.
Bannayuganda abalala okuli; Ronald Musagala, Shida Leni, Kirabo Namutebi, Kathleen Noble Grace, Catherine Nanziri, David Ssemujju, Shadir Musa Bwogi, Ambala Atuhaire, Albert Chemutai, Sarah Chelenget, Esther Chebet, Prisca Chesang, Winnie Nanyondo ne Halima Nakaayi, baawanduse dda mu mpaka zino.