Bya Stephen Kulubasi
Bulange – Mmengo
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abaganda okunyweza ennono, bakwasise empisa mu baana abato kibayambe okulwanirira Obwakabaka wamu n’okubeera ab’omugaso.
Okusaba kuno, Owek. Mayiga akukoledde mu bimuli bya Bulange leero ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo olusobye mu bukadde 11 okuva e Bulemeezi mu ggombolola okuli; Mutuba IV Makulubita, Mutuba VIII Kikamulo, Ngoma ne Ssaabagabo-Nakaseke.
“Bwe tutanyweza nnono zaffe, bwe tutakwasisa mpisa zaffe naddala mu baana abato, bwe tutakuuma buntubulamu, tuba tusaabulula ebirungo ebifuula omuntu Omuganda.” Owek. Mayiga bw’alabudde.
Mukuumaddamula agambye nti abakiika Embuga buli wiiki bassa ettoffaali ku nsonga Ssemasonga esooka ey’okukuuma, okutaasa n’okunyweza Nnamulondo, kuba bavaayo okulwanirira ekyo kye bakkiririzaamu.
“Okukuuma, okutaasa n’okunyweza Nnamulondo ly’ebbanja lye tulina okusasula kati ffe abaliwo, abaana n’abazzukulu abava mu ffe basobole okubeera mu Buganda ng’ekyalina obubonero bwayo obugifuula eggwanga ekkulu erigifuula Obwakabaka.” OWek. Mayiga bw’alambise.
Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano n’atematema ensimbi ezireeteddwa mu luwalo omuli okuzzaayo ezimu ku ggombolola gye ziva, okuwaayo ezimu mu nsawo ya Kabaka ey’ebyenjigiriza wamu n’okuyambako emirimu mu gavumenti ez’ebitundu n’Obwakabaka okutwaliza awamu.
Mayiga alaze nti mu kiseera nga Buganda tennafuna Federo, ensimbi zino ezireetebwa ze ziyambako okutambuza emirimu. Mu ngeri y’emu Katikkiro Mayiga yeebazizza aba Masaka Association of People with Disabilities And HIV, abawaddeyo obukadde 11 okukola ekkubo eriyitamu abantu abaliko obulemu nga batandise n’obukadde 8.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti wadde abamu balowooza nti abaliko obulemu bwe obwo obulabika naye basaanye okukimanya nti waliwo n’atabaliiko bulemu bulabika naye ate naaba n’obulemu obunene era n’alemwa n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ppookino Jude Muleke nga y’akulembeddemu Bannamasaka, asiimye Katikkiro Mayiga olw’okuyiwa evvu mu nsanafu ezibadde zitandise okuzinda Obuganda. Aba MADIFA bannyonnyodde nti batta omukago n’essaza Buddu okulwanyisa akawuka ka Mukenenya naddala mu bantu abaliko obulemu.
Bano basiimye Nnamuswa olw’okubeera emmunyeenye y’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya mu Uganda ne Africa era ne bamusaba alagire ekitongole kya UNAIDS kirowooze ku bantu abaliko obuleme abawangaala n’akawuka kano.