• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buvunaanyizibwa bwa buli muganda okuzza ekitibwa ky’amaka – Owek. Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
October 15, 2020
in Amawulire
0 0
0
Buvunaanyizibwa bwa buli muganda okuzza ekitibwa ky’amaka – Owek. Kyewalabye
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo

Minisita w’obuwangwa, ennono, olulimi n’ebifo eby’enkizo mu Bwakabaka bwa Buganda, David Kyewalabye Male, asabye basenga ne bakojja okuyambako okuzzaawo ekitiibwa ky’amaka nga bayamba okulwanyisa obutabanguko mu maka.

Minisita Kyewalabye nga akwasa omu ku babadde mu musomo guno ebbaluwa

Bino Owek. Kyewalabye abitegeezezza basenga ne bakojja ng’aggalawo omusomo gwabwe ku kuziyiza obutabanguko mu maka oguyindidde e Bulange Mmengo mu Kampala ku Lwokuna.

“Buvunaanyizibwa bwaffe ng’abaganda okukomyawo ekitiibwa ky’amaka, ensonga zino ne bwe baabeeranga basibirira omwana omuwala, bamuyitirangamu engeri gy’ayinza okuyita mu bizibu bino, baamugambanga nti bwe kiba kikuyitiriddeko batika amazzi mu matama,” Owek. Kyewalabye bw’asabye.

Minisita Kyewalabye agambye nti kibeera kya ttendo bakojja ne bassenga abasibuka mu Bwakabaka bwa Buganda bwe bakomawo nebalambikibwa kubanga bwe batakola mulimu gwabwe, wabaawo abavaayo okugubakolera.

Owek. Kyewalabye annyonnyodde nti, kino kijja kuyamba okuzza amaka ku musingi Buganda kwe yagateekerateekera. Annyonnyodde nti buvunaanyizibwa bwa baganda okuddayo mu nnono n’obuwangwa  ensonga nga zino ne ziweebwa abantu abatuufu.

Agambye nti  kya ttendo mu kukwasaganya ensonga zino bwe bayambibwako abakugu ne balambika ensonga ez’ekikugu ne bazikwasaganya n’obuwangwa okusobola okuzitambuliza awamu mu kifo ky’abamu okuzivumirira nga baziyita eza sitaani.

Ono ategeezezza nti mu butonde omuganda alina ensonga z’amalira mu ddiiro, mu kisenge ne mu luggya era nga kino kibayamba bulijjo okukuuma ekitiibwa ky’amaka.

Kyewalabye agambye nti abaana bangi bafiiriddwa omukisa gw’okusoma ng’entabwe eva ku butabanguko mu maka, ono alaze ng’abafumbo bwe batuuse n’okweweebula nebakunamira ensi n’okusaanyaawo ekitiibwa kyabwe olw’ensonga nti obutabanguko mu maka bubanaazaako ensonyi.

Asabye abazadde naddala abasajja okufaayo okukola batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe era bakole kiyambeko okwegobako obwavu kuba buno bwebusinga okuvaako obutabanguko mu maka.

Owek. Kyewalabye asiimye  Minisitule y’Ekikula ky’abantu mu Bwakabaka   n’ekitongole ky’amawanga amagatte ekya UNFPA, olw’okutegeka omusomo guno.

Abamu ku basenga ne bakojja abeetabye mu musomo

Abasomesa ab’enjawulo okuli; Dr. Phionah Kalinda, muky. Fatuma Nakazzi, Ssali Damascus n’abalala, basabye buli omu  akole ky’asobola okumalawo ekizibu kino.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.