Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okwongera okukolagana ne gavumenti eyaawakati okwongera okukuuma n’okutaasa obutonde bw’ensi obwongera okusaanawo buli lukya.
Bino byogeddwa omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo, bw’abadde atongoza Ssabbiiti y’obutonde bw’ensi mu Bwakabaka n’okugaba endokwa z’emiti eri abaami b’amasaza ezigenda okusimbibwa ku mbuga zaabwe ku mukolo oguyindidde ku mbuga enkulu e Bulange-Mmengo. Enteekateeka eno etambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Twagale obutonde bw’ensi.”
“Tetulina kutunula butunzi naye tulina okukozesa ensi eno Katonda nga bwe yagituwa naffe abaliwo ne tusobola okugyeyagaliramu, abanajja mu maaso basobole okugisanga ng’ekyali bulungi. Akabaate ke tulina kwe kuba nti tweyongera obungi ate nga we tuli wafunda.” Owek. Kaawaase bw’annyonnyodde.
Akunze abantu ba Buganda okwenyigira mu nteekateeka zino zonna ezitaasa obutonde kuba twolekedde okugwa mu kabi kano omuli amataba n’omukka omubi Uganda efuukire ddala eddungu.
Ono asabye gavumenti okuzza ebibira ebiri ku ttaka lya Buganda basobole okwongera okubikuuma kuba bingi bisaanyiziddwawo kuba abantu beeyongedde kyokka ng’ettaka kwe balina okuwangaalira lisigadde nga bwe lyali. Omukubiriza w’abataka, Augustine Mutumba, ategeezezza nti omusomo guno gukwata ku nsonga enkulu ey’okukuuma, okutaasa n’okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Ono akunze abantu bonna okwenyigira mu nteekateeka eno kisobozese okukuuma obulungi obutonde abaana n’abazzukulu basobole okubusanga.
“Tuzze wano okwekebera n’okwefumiitiriza ku buvunaanyizibwa bwaffe eri obulungi bw’ensi yaffe ng’essira tulitadde ku butonde bw’ensi Katonda bwe yatuwa.” Jjajja Mutumba bw’agambye.
Ono alaze okunyolwa olw’okusaanyaawo ebibira awamu n’okwonooneka kw’obutonde bw’ensi naddala wano mu Buganda nga kino kivudde ku kyakubeera nti Buganda y’entabiro ya buli kimu naddala enkukulaakulana.
“Ffenna tukimanyi bulungi nti ennono, obuwangwa n’embeera zaffe wano mu Buganda bya butonde era toyinza kwawukanya bantu ba Buganda ku butonde ng’emiziro omuli ebimera, ebyennyanja awamu n’ebisolo so nga n’empewo ez’obuwangwa ziwummulira mu butonde bw’ensi.” Namwama bw’ategeezezza.
Jjajja Namwama asabye abakulembeze mu Buganda boogere okusomesa abantu ku bukulu bw’obutonde bw’ensi era basimbe emiti ku mbuga z’Obwakabaka, mu maka, ku biggwa, era emiziro mu bimera n’ebisolo ebirundibwa bikuumibwe bireme okusaanawo.
Minisita w’obutonde bw’ensi mu Bwakabaka, Mariam Nkalubo Mayanja, ategeezezza nti obutonde bw’ensi bwe buwangwa bw’Abaganda kuba ebika byabwe ebisinga bikwatagana butereevu n’obutonde bw’ensi.
Nkalubo asabye abantu okujjumbira okusimba emiti ginnansangwa kisobozese okwongera okukuuma obutonde bw’ensi.
Akwasaganya eby’entobazzi mu Buganda, Nicolas Magala, ategeezezza nti wadde amakolero galina omugaso naye galina kukwatibwa bulungi galeme kusaanyaawo ntobazzi kuba bangi ku bantu tebamanyi mugaso gwazo so ng’obulamu bw’omuntu kwe buyimiridde.
Oluvannyuma abakulembeze, bajjajja abataka n’abaami ba Kabaka babanguddwa ku butonde bw’ensi omuli emigaso gyabwo, engeri y’okubukuumamu n’ebirala. Abakugu okuva mu minisitule ey’amazzi n’Obutonde bw’ensi mu gavumenti eyaawakati be beeyigidde mu musomo guno era guno guguddwawo Omutaka Namwama.