• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda yaakuyambako okuzzaawo ekizimbe ky’e Makerere -Owek. Nsibirwa

Gambuuze by Gambuuze
October 1, 2020
in Amawulire
0 0
0
Buganda yaakuyambako okuzzaawo ekizimbe ky’e Makerere -Owek. Nsibirwa
0
SHARES
22
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa
Makerere

Obwakabaka bwa Buganda bugenda kuyambako Ssettendekero wa Makerere okuzzaawo ekizimbe kya ‘Main Building’ ekyakwata omuliro mu mwezi oguwedde.

Prof. Nawangwe nga aliko byalaga Owek. Waggwa Nsibirwa

Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, y’alangiridde kino leero ku Lwokuna bw’abadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga wamu n’okusaasira Cansala wa Makerere, Prof. Barnabas Nawangwe ku kizibu ekyabagwira.

“Njagala okukakasa nti nga muteekateeka okulaba engeri ekizimbe gye kiddawo, Obwakabaka bugenda kulinda enteekateeka eyo okulaba nti tunaasonda tutya ensimbi naffe tulabe engeri gye tuneenyigiramu mu maanyi gaffe n’obunafu bwaffe.” Nsibirwa bw’agambye.

Owek. Nsibirwa agambye nti Obwakabaka bunyolerwa wamu nabo era nga bukkiriza nti nga bakwatidde wamu ensonga eno, bajja kugiggusa.

Ono agambye nti balina essuubi nti ekizimbe ekinaddamu okuzimbibwa, kijja kubeera kya mulembe naye nga kiri mu kifaananyi ky’ekizimbe ekikadde.

Owek. Waggwa ayongeddeko nti Obwakabaka ne Ssettendekero ono balina enkolagana ey’amaanyi nga Ssekabaka Muteesa II, baminisita n’abaweereza mu Bwakabaka bangi basomera wano.

Ono asiimye Nawangwe olw’enkolagana gy’alina ne Buganda era ng’ayakola nnyo okuzzaawo ennyumba Ssekabaka Muteesa II.

Ye amyuka Cansala wa Makerere, Prof. Barnabas Nawangwe, ategeezezza nti Ssettendekero wa Makerere alina akakwate kanene n’Obwakabaka bwa Buganda era nga Jjajja wa Katikkiro Waggwa Nsibirwa ye yawaayo ettaka lino ku lwa Buganda.

Nawangwe agambye nti ekizimbe kino ekyayidde, ezimu ku nsimbi ezaakizimba zaaweebwayo Kabaka wa Buganda.

“Ebimu ku bizimbe byaffe bikyatudde ku ttaka lya Buganda Land Board era Obwakabaka tebutukaluubizangako ku nkozesa y’ettaka lino, ekizimbe kino ekyakutte omuliro ky’ekizimbe ezikulu ekyasembayo okuzimbibwa kubanga waliwo ebizimbe ebirala bibiri mwe twali tukolera.” Nawangwe.

Ono agasseeko nti ekizimbe kino kya byafaayao ng’abantu ab’amaanyi okuli abamanyi okuli; Julius Nyerere, Mwai Kibaki, Apollo Miton Obote, Benjamin Mkapa n’abalala bonna baasomerako mu kizimbe kino era nga ke kabadde akabonero k’ebyenjigiriza ebyawaggulu mu kitundu kino ekya Ssemazinga wa Africa.

Nawangwe agamba nti yeerabirako ng’ekizimbe kino kisaanawo naye nga taliiko ky’ayinza kukola. Ategeezezza nti balinze alipoota ku kyavuddeko omuliro era ne alipoota ku kizimbe kyennyini okulaba oba kisoboka okuddaabirizibwa oba kyonna kyetaaga kusaanyaawo batandike buto.

Ono ayongeddeko nti olwaleero batongozza kaweefube w’okusonda ssente ezisobola okuzzaawo ekizimbe kino, alambuludde ng’ekizimbe kino bwekitaaweddewo kyonna kubanga ‘Main Hall’ n’omwaliro ogukusookera ddala wansi tebyafunye buzibu.

Nawangwe yeebazizza Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okubagumya ku kizibu kino, n’alambulula nti abantu baatandise edda okuwaayo ensimbi nga mu bano mulimu ebitongole nga Master Card Foundation, abakozi ku ttendekero awamu n’abantu ssekinnoomu.

Minisita Prosperous Nankindu Kavuma agambye nti nga ye eyasomera ku ssettendekero, banyolwa kyokka n’agamba nti osanga wajja kuddawo ekizimbe eky’omulembe era n’asuubiza nti Obwakabaka bwakutambulira wamu ne Makerere.

okuzimba ekizimbe kino kwatandika mu 1938 nekimalirizibwa mu 1941 era nga kyatwala obudde okumalirizibwa kubanga byali biseera bya Ssematalo owookubiri ate nga n’ebizimbisibwa mu kaseera ako byali bizibu okufuna. Okukizaawo kigenda kwetaagisa obuwumbi 15 eza silingi za Uganda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.