• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda okubanja Federo tetunoonya kitiibwa – Owek. Kyewalabye Male

Gambuuze by Gambuuze
November 9, 2021
in Amawulire
0 0
0
Buganda okubanja Federo tetunoonya kitiibwa – Owek. Kyewalabye Male
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Minisita w’eby’obuwangwa, ennono, obulambuzi, embiri, olulimi n’ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male  agamba nti kaweefube wa Buganda okubanja Federo tenoonya kitiibwa, wabula eyagala kutuusa mpeereza ku bantu baayo.

Okulambika kuno, Owek. Kyewalabye akukoledde mu bimuli bya Bulange ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bannakyaggwe, abasawo b’ekinnansi, ab’ekika ky’Empindi ne  Mutuba VIII -Kikandwa okuva e Ssingo.

“Okugema okwawedde mu Ssabbiiti emu nategedde nti twasusse omutwalo gumu n’ekkumi nnya mu bantu abagemeddwa. Kati alina ebintu byaffe abikutte nga Federo aba akyayagala ki? Okuggyako weema ze baalese wano tewali ssente ze baatuwadde kukola omulimu ogwo.  Kitegeeza nti Buganda esobola okukola ku nsonga zaayo, bwetuba twogera ku Federo tetunoonya kitiibwa naye tunoonya okukola ku nsonga zaffe ezigenda okuggya abantu mu bwavu.” Owek. Kyewalabye bw’agambye.

Okukkaatiriza kino, Minisita Kyewalabye  anokoddeyo okugaba omusaayi, emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka n’okugema okwekikungo, Emmwanyi Terimba ng’ebimu ku bintu ebitono Buganda by’ekoze n’eteekawo likodi ku mutendera gw’ensi yonna.

Owek. Kyewalabye asabye abaami ba Kabaka okutwala enteekateeka za Buganda mu maaso kiyambe abantu be baweereza okweggya mu bwavu ne Buganda edde ku ntikko.

Ono ajulizza ebyafaayo okukakasa Buganda n’okukola ebyafaayo nti n’abazungu bwe bajja kuno beewuunya enteekateeka eyaliwo kuba wadde baalowooza nti Afirika ekyali mabega baasanga Buganda esolooza, omusolo, ng’erina olukiiko n’omukulembeze Ssaabasajja Kabaka eyali aweebwa ekitiibwa.

Owek. Kyewalabye agambye nti ennyumba Buganda yabangibwa mu bika bya Buganda ebiwerera ddala 55 era endagaano ya Ssekabaka Kato Kintu e Nnono ne bawaayo obumu ku buyinza bwabwe eri Ssaabataka, mwalimu okuyimirizaawo Ssaabataka  nga kino kirambikira nnyo mu luwalo.

Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki akubirizza abantu okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna kuba zitegeddwa ku baganyula na kutumbula mbeera zaabwe.

Omwami wa Kabaka akulembera essaza Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Boogere  yeebazizza ab’ekika ky’Empindi okukulemberamu okuleeta Oluwalo luno era n’awera okuweereza  abantu ba Kabaka.

Ate Ssentebe w’abasawo b’ekinnansi e Kyaggwe, Male Moses Byekwaso agamba nti ekibaleetedde okwenyigira mu nteekateeka eno kwe kubaako ettoffaali lye bazza eri Obaganda.

Bano abakiise Embuga baleese Oluwalo lw’obukadde obukunukkiriza mu 12 era ne bawera okwongera okutambulira awamu ne Ssaabasajja Kabaka.

Share this:

Tags: BugandaKyewalabye Male
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.