Bya Ssemakula John
Kampala
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye abantu okwettanira enkola ya Yinsuwa esobole okubabeerera engabo singa babaako okusoomoozebwa kwe basanga mu ntambuza y’emirimu gyabwe awamu n’obulamu bwabwe, kibayambe obutafiirizibwa.
Bino Owek. Mayiga abyogedde atongoza kkampuni y’Obwakabaka eya Yinsuwa eya Weerinde Insurance Services (WISE) ku Muganzirwaza e Katwe mu Kampala ku Lwokuna.
“Ku mulundi guno tusazeewo okuleeta obuweereza mu kisaawe ekya Yinsuwa ng’obuweereza buno tubuyisa mu Weerinde Insurance Services. Aboogezi abansoose batubuulidde nti bbizineesi ya Yinsuwa ekola ng’engabo. Omutabaazi, omulwanyi oba omujaasi teyagendanga mu lutalo nga talina ngabo. Engabo ye yatangiranga amafumu n’obusaale okufumita omulwanyi,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga agamba nti Buganda ey’omulembe Omutebi yeetaaga abantu abakozi era abanyiikivu, abatakoowa okukola emirimu nga okulima, okusuubula oba okuzimba amayumba n’emirimu emirala gyonna naye nga gino gyetaaga engabo eya Yinsuwa.
“Bbizineesi zeetaaga engabo. singa bbizineesi ekosebwa olw’ebigwa bitalaze, olwo Yinsuwa eyingirawo nga bakuliyirira.” Owek. Mayiga bw’agasseeko.
Ono abantu abawadde amagezi okwettanira Yinsuwa era n’ategeeza nti Weerinde egenda kuyambako abantu abeetaaga obukuumi obutali bwa ngeri zimu kwe kubagatta ku kkampuni za Yinsuwa basobole okutambuza emirimu gyabwe obulungi.
Owek. Mayiga asabye abalondeddwa okukulira kkampuni eno babangule abantu ku nteekateeka za Yinsuwa ez’enjawulo omuli ey’obulamu, ebisale by’abaana awamu n’endala kuba abantu beetaaga okubitegeera balyoke babyeyunire.
Katikkiro Mayiga akunze abantu abatambuza ebintu ebyenjawulo awamu n’abaagala okwekuuma obulamu bwabwe okweyambisa omukisa guno ogwa Weerinde bafune amagezi awamu n’okuyambibwa okw’engeri ezitali zimu.
Mu ngeri yeemu akubirizza abakulembeze n’abakozi mu yinsuwa y’Obwakabaka nga baweereza, okukulembeza Obwerufu nga mu kino lwe bajja okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa.
Ye Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert waggwa Nsibirwa asabye abakozi mu Weerinde Insurance Services ku bukozi okugattako obuyiiya okulaba nga yinsuwa egenda mu maaso wamu n’okukula.
Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa Weerinde Insurance Services, Dr. Evelyn Kigozi Kahiji wamu ne ssenkulu wa Weerinde, Jennifer Mirembe Ssensuw, baweze okukola obutaweera okulaba nga Yinsuwa y’Obwakabaka eyitimuka wamu n’okuggyayo ekigenderrwa kyayo okuzza Buganda ku ntikko.
Omukolo guno gwetabiddwako bannamikago okuva mu Yinsuwa ez’enjawulo nga bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole ekigatta Yinsuwa zonna mu ggwanga ekya Insurance Regulatory Authority Of Uganda ( IRA), Al-hajji Kadunabi Lubega era ono yeebazizza Obwakabaka okutandikawo Yinsuwa gy’agambye nti yaakubaako ettoffaali ddene ly’egatta ku nkulaakulana y’ekisaawe kya yinsuwa n’eggwanga okutwaliza awamu.