• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda eteekeddwa okwerwanako nga bwebanja ebyayo – Katikkiro

Gambuuze by Gambuuze
April 30, 2024
in Amawulire
0 0
0
Buganda eteekeddwa okwerwanako nga bwebanja ebyayo – Katikkiro
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bulange -Mengo

Bya Ronald Mukasa

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga akubirizza abakulembeze mu Buganda n’eggwanga lyonna okukolagana obulungi ne bannaabwe nga bawangana amagezi, wamu n’okwessaamu ekitiibwa nga bagoberera ennambika ezibaweebwa bakama baabwe n’okukola Ssaabasajja byayagala.

Mukuumaddamula  era asabye abakulembeze bulijjo okunoonya amagezi okuva mu bantu ab’enjawulo basobole okuwangula mu buweereza bwabwe. Mu ngeri yeemu, Kamalabyonna akalaatidde abakulembeze  okuwa abantu abalala ekitiibwa okutandikira ddala ku muntu asooka okutuuka ku muntu asembayo olwo nabo basobole okuweebwa ekitiibwa ekibagwana.

“Ow’eggombolola bwabeera nga alina omusiri gw’emmwanyi nga yeewa ekitiibwa, lwaki abantu tebamuwulirize bwagamba nti bannange mukole kino Kabaka kyayagala?” Katikkiro bwabuuzizza

Owomumbuga yebazizza Bannassingo ne Bannakabula abakiise Embuga olwaleero nategeeza ng’Obuganda bwebuteekeddwa okwelwanako nga bukola ate nga bwebubanja ebyo bye bwagala.

“Buganda ekyalina byebanja nga Federo,  kyokka tulina okwelwanako nga bwetubanja, n’olwekyo Oluwalo kwelwanako emirimu gya Kabaka gisigale nga gitambula”. Katikkiro bwakkatirizza

Kulwa minisita wa gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka, n’ensonga z’ebweru wa Buganda, Owek. Israel kazibwe Kitooke yebazizza abantu ba Beene abakiise embuga olwaleero nategeeza nga buli omu bwavunaanyizibwa obutaswaza Nnyinimu nga twenyigira buterevu mu nteekateeka w’Obwakabaka.

“Nga tetunnafuna Federo empandiike, twasalawo  tube ne Federo eyaffe ey’ebikolwa, buli lwovaayo newenyigira mu nteekateeka Kamalabyonna zatulambika ne Ssaabasajja zatulagira, oba otaddewo Federo ey’ebikolwa elabisiddwa olwaleero” Owek. Kazibwe bwategeezezza.

Minisita kazibwe era alabudde Obuganda ku bantu abasekeeterera Obwakabaka nategeeza nti abantu ba Beene bwebaba abawulize eri Nnamulondo, abagyogerera ebisongovu baba tebalina gyebagitwala.

Bannassingo ne Bannakabula bakiise Embuga n’Oluwalo lwa bukadde bw’ensimbi ezisobye mu 25. Omukolo guno gwetabiddwako Abaami b’amagombolola n’amasaza okuli Mukwenda Deo Kagimu, Lumaama David Luyimbaazi, omubaka wa Kasanda South, Frank Kabuye, bannabyabufuzi ab’enjawulo n’abantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist