Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago National Environment Management Authority – NEMA, ekitongole ekivunanyizibwa ku kulabirira n’okulera obutondebwensi, omukolo gubadde mu Bulange e Mmengo.

Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu, Owek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja y’ataddeko omukono ku lw’Obwakabaka, ate Dr. Barirega Akankwasah, n’assaako ku lwa NEMA.
Mu kujulira omukago guno, Katikkiro wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga ategeezezza nti obutondebwensi ku luuyi lw’Obwakabaka kibakwatako butereevu okukuuma obutonde kubanga Obwakabaka bwazimbibwa ku bika omusibuka emiziro egyeddirwa n’olwekyo obutondebwensi bwe butakuumibwa bulungi emiziro gyandibulwako wegibeera n’essiga ekkulu mu Bwakabaka lisobola okunyumibwako kyokka kasita obutondebwensi bulagajjalirwa.

Kamalabyonna asanyukide omukago guno gw’agambye nti gwa kwongera okumanyisa abantu obulabe obuli mu kussa omukka ogujjudde ebifettefette nti bino birwaza omutima era biviirako abaana abato okufa. Okuyita mu mukago guno, Obwakabaka bwa kulondoola omutindo gw’empewo n’obutondebwensi okusobola okulwanyisa ebyo byonna ebidobonkanya empewo.
Oweek. Mariam Mayanja, alaze essuubi nti omukago guno gwa kuyamba Obwakabaka okutaasa ebisolo, n’ebimera ebyoleka emiziro gya Abaganda, Obwakabaka nga bukozesa emitendera gy’obukulembeze okuva ku Ssaabasajja Kabaka okutuuka wansi ku muluka bwa kukunga abantu ba Kabaka ku bikwata ku butondebwensi. Nga bakozesa omukago guno, Minisita Mariam agamba nti bagenda kusimba emiti wamu n’okutereeza entobazzi ezitaaguddwa okugeza Lubigi, Busega, n’endala.
Ye Dr. Barirega Akankwasah, ssenkulu wa NEMA, agamba nti obutondebwensi gwe musingi gw’ebyenfuna, ate eby’obutonde biwanirira eby’obulambuzi n’olwekyo obutondebwensi bwe bwonoonebwa amawanga, ennono n’ebyenfuna bitaataaganyizibwa. Agamba nti okwonoona obutondebwensi kwongedde okwegiriisa mu Uganda nga kino kivudde ku kusasaanya kasasiro, n’obukyafu obuva mu mukka omubi. Akinogaanyizza nti Obwakabaka bukulembeze obwa nnamaddala era obulina obwesige mu bantu olw’enkola ennungamu ey’okukuuma obutondebwensi omuli empisa z’Ebika, emiziro nga ne leero enkola zino zikyayamba nnyo okukuuma obutondebwensi era kwe bagenda okwesigamya omukago guno.

Mu ngeri yeemu obwakabaka butongozza omubala gw’okukuuma empewo abantu gye bassa ogutuumiddwa “Empewo bwe Bulamu”, enteekateeka eno etembeetebwa Prof. Rebecca Larson, okuva mu Nelson institute for environment studies- University of Wisconsin-Madison mu America.









