• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Buganda ekyayaayanira enfuga ya Federo – Minisita Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
October 11, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Buganda ekyayaayanira enfuga ya Federo – Minisita Kyewalabye
0
SHARES
48
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Bulange – Mmengo

Minisita w’obuwangwa, ennono, olulimi, embiri  n’ebyobulambuzi mu Bwakabaka, Owek. David Kyewalabye Male ategeezezza nga Buganda bw’ekyayaayanira okufuna enfuga ya Federo, kigiyambe okugabana ku kkeeki y’eggwanga mu bwenkanya.

Bino Owek. Kyewalabye abyogeredde mu nsisinkano gy’abaddemu ne Minisita wa gavumenti erindiridde (Alternative Government) avunaanyizibwa ku biyiiye, ebyemizannyo n’ebyobuwangwa; Omubaka Hillary Kiyaga  amusanze mu Bulange e Mmengo ku Mmande okwegeyaamu ku nsonga ezitali zimu.

Owek. Kyewalabye ategeezezza nti beetaaga Federo  okukola ku nsonga z’abantu baabwe, olwo gavumenti efune omukisa okwemalira ku nsonga ennene ez’eggwanga lyonna nga ne Buganda mw’eri.

“Buganda ekyayaayanira enfuga eya Federo esobole okuwulira nti egabana ku kkeeke ya Uganda kyenkanyi. Waliwo w’olaba obutali bwenkanya; bw’otunuulira ebibuga ebikoleddwa, Kabaka yamala kusaba, eky’e Masaka ne bakituwa! Bw’otunuulira Munisipaali n’ebibuga ebitondeddwawo, ebyaffe bitono nnyo, ababaka abaffe batono nnyo bw’ogeraageranya n’abalala.”  Minisita Kyewalabye bw’agambye.

Ono asabye ababaka okwegatta ku nsonga za Buganda ng’obubondo bw’ebitundu ebirala bwe bukola era bakomye n’omuze gw’okusooka okubuuza ebibiina byabwe we biyimiridde ku nsonga za Buganda.

Owek. Kyewalabye ababaka abasabye bakimanye nti ensonga za Buganda ze nsonga zaabwe awamu n’abantu baabwe, kuba Omutanda ayagala okulaba ng’embeera y’abantu be erongooka buli lukya.

Ono alaze nga bwe baliko olukalala lw’ebifo eby’ennono bye baagala Palamenti ekkirize bifuuke eby’obulambuzi mu ggwanga, kuba byankizo ebisobola okuleeta kuno ensimbi.

Mu kwogera kwe, Dr. Hillary Kiyaga agambye nti okuva lwe yakwasibwa minisitule eno, asanze okusoomoozebwa kungi mu bavubuka naddala bannabitone abeetaaga oukwasizaako n’okulambikibwa okuva mu Bwakabaka.

Kiyaga agambye nti  nga Minisita ku ludda oluvuganya agenda kukunga banne okulaba engeri gye basobola okutumbula enteekateeka z’Obwakabaka ezigendereddwamu okutumbula abantu be.

Share this:

Tags: HildermanHillary KiyagaKyewalabye Male
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist