• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda efungizza ku kutumbula olulimi Oluganda

Gambuuze by Gambuuze
June 15, 2021
in Amawulire
0 0
0
Buganda efungizza ku kutumbula olulimi Oluganda
0
SHARES
115
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John
Mmengo – Bulange

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kibiina ky’olulimi Oluganda kikwataganye n’amatendekero agawaggulu okulaba engeri gye basobola okukuuma ekitiibwa ky’olulimi Oluganda.

Kino kirangiriddwa Minisita avunaanyizibwa ku buwangwa, ennono, olulimi Oluganda awamu n’ebyokwerinda, Owek. David Kyewalabye Male, mu lukung’aana n’ebibiina by’enjawulo olutudde e Bulange- Mmengo ku Lwokubiri.

“Twagala kukwatagana tulabe, tuyinza tutya okutumbula olulimi Oluganda. Twagala okusomesa n’okwagazisa abaana naye tewali agenda kwagala kintu kigenda kumuleetera bizibu.” Owek. Kyewalabye bw’annyonnyodde.
Minisita Male agamba nti Obwakabaka bwagala Oluganda kuba lwe lugenda okunyweza ennono n’Obuwangwa bwaffe era lulung’amye n’ennono.

Owek. Kyewalabye ategeezezza nti olulimi Oluganda luzze lukyuka olw’okwetabulamu ennimi endala wamu n’ebintu okukyuka, ng’abavubuka bangi balina ebigambo bye bagungizzaawo.

Kyewalabye agamba nti ne mu matendekero agayambye ennyo okukuuma olulimi luno, gasanze okusoomoozebwa okunene kyokka n’ageebaza olw’okulemerako.

Ono asabye ekibiina ky’olulimi Oluganda okufuba okulaba ng’abantu batumbula olulimi naddala mu kulambika abantu ku mpandiika naddala ku mannya gaabwe kubanga nayo nsonga nkulu.

Owek. Male abakuutidde banyweze obumu era bakkaanye, kiyambe okubbulula olulimi Oluganda naddala mu masomero n’amatendekero agawaggulu.

Abeetabye mu lukung’aana luno bakulembeddwamu ssentebe w’ekibiina ky’olulimi Oluganda, Omuk. Lukabwe Fred Kisirikko, anokoddeyo ebitongole ebivunaanyizibwa ku lulimi Oluganda wamu n’ebintu bye birina okukola, okukakasa nti olulimi terusaanawo.

Enteekateeka eno yeetabiddwamu abantu batono olw’ekirwadde kya Ssennyiga corona eyazinda eggwanga.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist