• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine: UPDF etidde okugiteekako envumbo, neesalawo okutuwaayiriza

Gambuuze by Gambuuze
March 2, 2023
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine: UPDF etidde okugiteekako envumbo, neesalawo okutuwaayiriza
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Akulira  National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga  Bobi Wine atadde eggye ly’ eggwanga erya Uganda Peoples’ Defence Forces (UPDF) ku nninga lireete okujulizi bwonna obulaga aba NUP nga bawamba Eric Mwesigwa.

Kyagulanyi agamba nti bano batidde nga kati olw’okutya amawanga g’ ebweru okubateekako envumbo basazeewo kubizza ku kibiina ki NUP.

Kino kiddiridde omusajja Mwesigwa okulya ebigambo byeyali yayogera nga alaga nga eb’ebyokwerinda bwebamuwamba kyokka eggulo nategeeza nti NUP yeyamuwamba nemutulugunya nga bamusuubizza obukadde 50.

Mwesigwa eyalina ebiwundu mu kifuba mu kaseera kano era yagenda mu maaso nateekayo okwemulugunya kwe mu Uganda Human Rights Commission (UHRC) nga agamba nti yawambibwa ab’ebyokwerinda nebamutulugunya.

Ono era yagenda mu maaso naggulawo omusango ku poliisi ye Kabalagala nga agamba nti okuva lweyava gyebaali bamuwambira waliwo abantu abamugoberera.

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Lwokusatu, Omwogezi wa UPDF, Brig. General Felix Kulayigye yategeezezza nti NUP ebadde ekozesa omutimbagano okwonoona ekifananyi kya gavumenti okulaga nti ab’ebyokwerinda baayo bebatulugunya abantu.

Kulaigye yagasseeko nti aba NUP baali bagifuula nkola buli kadde okuleeta abantu abalina ebisago nga abamu babiggye mu bubenje nebabalaga bannamawulire nti bawambibwa nebatulugunyizibwa ab’ebyokwerinda ekintu ekitali kituufu.

Kyagulanyi bino yabiwankanyiza nategeeza nti buno obuzannyo bwakito bwebatadde mu nsonga z’okutulugunya bannansi era kino kikakasa nti amagye gegazze gatulugunya Mwesigwa n’abalala.

Bobi Wine asinzidde wano nasaba bannayuganda obutakkiriza bazanyira ku mutwe naye batunuulire ebikolwa bya UPDF ebiyise omuli okutemulwa kwa Yasin Kawuma mu Arua nga newano babateekako ogw’okubeera n’emmundu naye ezitamanyise gyezaalaga n’okutuuka kati.

Ono era abalaze ebyaliwo ku  Moses Kibalama eyali abeefulidde kyokka oluvannyuma nakakasa kkooti nga bweyali asisinkanyeko nadduumira amagye g’eggwanga. Kuno agasseeko abantu nga Kakwenza Rukirabashaija ne Marinos awamu n’abalala ono agamba nti buli lwebamala okutulugunya omuntu babaako byebamugamba okugamba wakati mu kumutiisatiisa okumutta.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist