Bya Musasi Waffe
Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), alayidde nti tajja kubira Pulezidenti Yoweri Museveni maviivi okuyimbula abawagizi be abazze bakwatibwa kuba tebalina musango okuva akalulu lwe kaggwa.
Bino we bijjidde nga waakayita emyezi 4 ng’abeebyokwerinda bakutte era ne baggalira abawagizi ba Kyagulany. Bano baakwatibwa nga bagenze e Kalangala okunoonyeza Kyagulanyi akalulu.
Bwe yabadde ku kitebe kya NUP e Kamwokya nga basabira abali mu makomera n’abo abafiiriddwa obulamu, Bobi Wine yagambye nti abeng’anda z’abakwate batandise okumusaba ateese ne Museveni asobole okuyimbula abantu baabwe.
Kyagulanyi agamba nti bwekiba kituufu nti bano baliko omusango gwe bazza, batwalibwe mu kkooti z’amateeka bavunaanibwe kuba tewali ali waggulu w’amateeka. Mu 2020, abeebyokwerinda baasalako abawagizi ba NUP abawera 100 ne basibira mu makomera ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Masaka era bangi ku bano baayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Wabula 35 ku bano abaali ku lusegere lwa Kyagulanyi bavunaanibwa mu kkooti y’amagye emisango egyekuusa ku kusangibwa n’amasasi ekintu ekimenya amateeka.
Ku bano kuliko; Nubian Li, Eddie Mutwe, Dan Magic, awamu n’abalala.
Kino kiddiridde Kyagulanyi okusaba banne bwe bali ku ludda oluvuganya okwegatta bakolere wamu kuba enjawukana zongera kubasibira mu mikono gya Pulezidenti Museveni.
Ate ye Imam w’Omuzikiti gwa A Shuraa e Bweyogerere, yasabye aba NUP okwesiga Katonda kuba yekka yasobola okubanunula mu mbeera eno. Yasabye ne Gavumenti okukomya okutiisatiisa abagivuganya kuba nabo bannansi.
Bwe yabadde e Kyankwanzi ku Lwokusatu, Pulezidenti Museveni yagambye nti Gavumenti ye ejja kukola ku buli muntu yenna ayagala okutabangula emirembe.
Yagasseeko nti ye munnansiko ng’okwekalakaasa aba NUP kwe bagaala okukozesa okumuggya mu buyinza, kujja kubaleetera mitawaana naye tekusobola kumusika mu ntebe.