Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, asabye abeebyokwerinda okufaayo okukuuma bannayuganda n’ebyabwe mu kifo ky’okuyigganya, okuwamba ab’oludda oluvuganya.
Kyagulanyi bino abyogeredde mu maka ga Gen. Katumba Wamala ku lumbe lw’omugenzi Brenda Nantongo eyatemuddwa ng’ali ne kitaawe ku makya g’Olwokusatu.
“Kano kaseera kazibu nnyo mu ggwanga. Katiisa naye tusaba Katonda anyweze famire ya Gen. Katumba Wamala era twebaza Katonda olw’okutaasa obulamu bwe era tumusaba amussuuse mangu.” Kyagulanyi bwe yategeezezza.
Okusinziira ku Kyagulanyi ekyatuuse ku Katumba kirina okulaga abantu nti embeera etagondera mateeka n’ebikolwa bino tebikosa bantu baabulijjo bokka naye bannayuganda bonna.
“Tusaba abeebyokwerinda bafeeyo okukuuma bannayuganda ne byabwe bazze mu kumalira amaanyi mu kulwanyisa ab’oludda oluvuganya n’okuwamba bannayuganda.” Kyagulanyi bw’ategeezezza. Kyagulanyi agamba nti abatemu abalumbye Gen. Katumba batendeke era bakomando bakugu abasobola okukuba amasasi nga ppikipiki bwe zitambula.
“Bano batemu bakugu. Balabika batendeke nnyo, bino tebitandise lwa leero naye nze naawe tukimanyi nti teri alipoota eyali efulumye ku bantu abanene abattibwa mu ggwanga.” Bobi Wine bwe yagasseeko.
Ono agamba nti ebikolwa bino biva ku kweryamu nkwe mu bitongole by’ebyokwerinda wamu n’obutagoberera mateeka.