• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti

Gambuuze by Gambuuze
November 20, 2020
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti
0
SHARES
11
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Iganga

Eyeesimbyewo ku kkaadi ya National Unity Platform (NUP) ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti etudde e Iganga leero ku Lwokutaano.

Kyagulanyi eyakwatibwa e Luuka nga anoonya akalulu, yaggaliddwa mu kkomera e Nalufenya ku Lwokusatu okutuusa olunaku lwaleero, kkooti lw’emuyimbudde.

Ono avunaanibwa omusango gw’okukuba olukung’aana olumenya amateeka wamu n’okujeemera ebiragiro bya Ssennyiga Corona.

Bw’alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ento e Iganga, emisango gyombi agyegaanye.

“Ndi wano okugamba Museveni nti tetuli baddu mu ggwanga lyaffe, Uganda nsi yaffe era tujja kuginunula.” Kyagulanyi bw’agambye.

Kyagulanyi ayimbuddwa ku kakalu ka kakadde kalamba akatali kabuliwo ate abamweyimiridde ne basasibwa obukadde butaano ezitali za buliwo

Oluvannyuma lw’okukwata Kyagulanyi abantu beekalakaasizza era ng’olunaku lw’eggulo we lwazibidde ng’abaakafa baweze 38 nga poliisi egezaako okubagumbulula.

Ku Lwokusatu n’Olwokuna abavubuka baggala amakubo n’okwokya ebipiira mu nguudo era kyawaliriza abamagye okuyingira mu nsonga eno okuyambako poliisi okunyweza emirembe.

Waliwo n’obutambi bw’abantu abaabadde bambadde engoye eza bulijjo abaalabiddwako nga bakutte emmundu era nga bagezaako okutugumbulula abantu abaabadde beekalakaasa.

Ab’ebyokwerinda baakutte Kyagulanyi ku Lwokusatu ku bigambibwa nti yabadde amenya ebiragiro ebitangira Ssennyiga Corona ng’akung’aanya abantu.

Yonna Bobi Wine gy’ayise ng’akuba enkung’aana abantu babadde bamukung’aanirako era nga kino kizze kitabula abawagizi b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM).

Bwe yabadde e Kotido, Pulezidenti Museveni yagambye nti abantu abaabadde beekalakaasa olwa Bobi Wine okukwatibwa baabadde bakozesebwa abagwira abatayagala Uganda kutebenkera.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist