• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Bobi Wine asunsuddwa, alinze kwewandiisa Ssabbiiti ejja

Gambuuze by Gambuuze
October 28, 2020
in Amawulire
0 0
0
Bobi Wine asunsuddwa, alinze kwewandiisa Ssabbiiti ejja
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform,  Robert Kyagulanyi Ssentamu, asemberedde okulabikira ku kakonge ka banaavuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu kalulu ka bonna aka 2021.

Kino kiddiridde erinnya lye okulabikira ku lukalala lw’abantu abasunsuddwa  olunaku lwaleero ku Lwokusatu.

Okusinziira ku kiwandiiko kino ekifulumiziddwa omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda,Paul Bukenya, beekennenyezza emikono gya Kyagulanyi n’abalala 10 gye baawaayo nebakizuula nga tegiriimu nsobi era bwe batyo ne bakakasibwa.

Bobi Wine kati yeegasse ku balala abaasooka okukakasibwa okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga nga ku bano kuliko; Munna NRM Yoweri Museveni, Henry Tumukunde, Nancy Linda Nakalembe ne Fred Mwesigye nga bano tebalina kibiina.

Abalala ye Willy Mayambala, Joseph Kabuleta, John Kalumba ne munna FDC Patrick Obi Amuriat.

Bano bonna baweereddwa ssatifikeeti eziraga nti baafuna emikono egyali gyetaagibwa mu mateeka nga gino gye bajja okuwa omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda bwe banaaba beewandiisa Ssabbiiti ejja.

Etteeka erirambika abeesimbawo ku bwapulezidenti erya ‘Presidential Elections Act,’ liragira omuntu yenna eyeewandiisa okusooka okukung’aanya emikono egimusemba  gy’abantu 100 abalonzi okuva mu Disitulikiti 98.

Eby’okusunsulwa kwa Bobi Wine, bisanze akakiiko k’ebyokulonda kaakamala okufulumya ebiragiro eri abeesimbyewo ku bwapulezidenti obutagenda mu kifo we balina kwewandiisiza n’abantu basukka 10 ng’omu ku kaweefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.

Okuggumiza kino, Poliisi erabudde okukwata omuntu yenna anaagezaako okuyisa ebivvulu ng’ava okwewandiisa bamuvunaane.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist